TOP

Mmengo egenda mu kkooti ku by’ettaka

Added 30th November 2009

Wabula Minisita w’ebyettaka mu gavumenti eya wakati Omara Atubo yakontodde Mmengo n’agamba nti baddembe okugenda mu kkooti nga Bannayuganda abalala kyokka n’agamba nti etteeka ddungi kubanga ligendereddwamu okulwanyisa omuze ogw’okusengula abantu.

Atubo yannyonnyodde nti etteeka oku

Wabula Minisita w’ebyettaka mu gavumenti eya wakati Omara Atubo yakontodde Mmengo n’agamba nti baddembe okugenda mu kkooti nga Bannayuganda abalala kyokka n’agamba nti etteeka ddungi kubanga ligendereddwamu okulwanyisa omuze ogw’okusengula abantu.

Atubo yannyonnyodde nti etteeka okuyisibwa gavumenti yamala kwebuuza mu bitundu bya Uganda byonna nga ne Buganda mw’eri era nti Mmengo bw’egamba nti  abantu tebeebuuzibwako eba erimba.

Ekiteeso kya Mmengo kyaleeteddwa Kangawo Gideon Kisitu ne kiwagirwa olukiiko lwonna awatali kwesalamu, abakiise ne bategeeza nti eby’okwekubagiza bikomye, ensonga ka bazitwale mu kkooti zisalewo eggoye.

Ng’abakiise tebannayisa kiteeso, Katikkiro Ying. JB Walusimbi yasoose kunnyonnyola olukiiko nga Palamenti  mu ngeri ey’omutima ogw’okunyigiriza, omwoyo omubi n’okusosonkereza bwe yayisizza etteeka ly’ettaka

“Amateeka gonna agayisibwa nga galuubirira omuntu oba ekitundu ekimu gabeera mabi era tegatera kukola, mbalayirira nti ne lino etteeka terijja kukola”, Walusimbi bwe yategeezezza olukiiko olwakubiriziddwa Sipiika Hajji Kaddu Serunkuuma. Ababaka ba Latif Sebaggala, Erias Lukwago ne Husssein Kyanjo beetabye mu lukiiko.

Balinze Museveni

Minisita w’ebyamateeka  e Mmengo Apolo Makubuya yannyonnyodde nti balinda Pulezidenti okussa omukono ku tteeka lino balyooke bagende mu kkooti n’agamba nti balina emikisa mingi okuwangula omusango kubanga lyakoleddwamu ensobi nnyingi.

Abakiise b’olukiiko baagambye nti si tteeka lya ttaka lyokka wabula n’ensonga endala eziruma Buganda omuli  gavumenti okulemesa Kabaka okulambula ensi ye, okukwatibwa kwa baminisita ba Kabaka, gavumenti okugaana okusasula ssente zaayo n’okudoobya Buganda ku bintu byayo naddala ettaka lya mayiro 9,000, byonna kati kkooti ze zinaalamula.

Dr. Jack Luyombya yagambye oyinza okwagala okulaga obuyinza kyokka n’otaganyulwamu. “Oyinza okwagala okubonereza mukazi wo n’omulirika emiggo kyokka n’omutta mu butanwa, oba n’anoba n’adda ewaabwe eyo akasajja akataliimu nsa gye kamusanga ne kamuwa olubuto ogenda okumunona  nga tekiyimba.

Munnamateeka Joseph Balikuddembe yagambye nti etteeka lino okuyisibwa liyambye okulaba abaagala Buganda n’abalabe baayo. Yagasseeko nti etteeka lino terizze kulwa bulungi bwa Buganda n’awa ekyokulabirako nti e Mubende, RDC ng’ali wamu n’amagye baasobola okusengula abantu abasoba mu 2,400 ku kyalo Madudu  n’abamu ne battibwa nga n’okutuusa kati babundabunda gavumenti eyagala emirembe lwaki abo tebasasulanga?

Ssalongo Lutaaya Kibandwa omukiise wa Ssese yagambye nti ettaka lya Buganda lyaginyagibwako ku kifuba era Buganda ebadde esuubira nti enteeseganya eziriwo zigenda kuyamba okulizza kyokka  gavumenti bw’eyisa etteeka lino, kitegeeza tewali ssuubi okuggyako okugenda mu kkooti.

Ababaka abamu basiimiddwa

Bwanika Bbaale owa Bulemezi yawadde Katikkiro Walusimbi amagezi okuwandiikira ababaka ba Palamenti abaawakanyizza etteeka ng’abeebaza ate John Sebaana Kizito n’asaba Katikkiro okuwandiikira ababaka ba Buganda abaawagidde etteeka ng’abavumirira olw’okulya mu Buganda olukwe.

Sevume Musoke nga ye Mugerere ye yasesezza olukiiko bwe yagambye nti abababa ba Buganda abaawagidde etteeka abakolimidde.

Ebiteeso ebyayisiddwa

  Olukiiko luvumiridde  etteeka ly’ettaka nti abaaliyisizza tebassizza kitiibwa mu birowoozo by’abantu abangi omuli bannabyabufuzi okuva mu bibiina eby’enjawulo, bannaddiini, olukiiko lwa Buganda n’Abaganda  n’abantu abalala okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo abazze balaga ebituli ebiririmu.

 Olukiiko lwebazizza ababaka ba Palamenti abaawakanyizza etteeka ne banywerera ku ludda lw’abantu abangi abaawakanya etteeka  naddala n’ababaka abava mu kibiina kya NRM abaawagidde endowooza z’abangi.

 Lulagidde Ssabawolereza wa Mmengo yekennenye ensonga zonna enkulu omuli mayiro 9000, mayiro 1500 ez’ebibira n’emigga, ebintu bya Buganda byonna ebitannaddizibwa n’eky’okukwata abakungu ba Kabaka abyanjule mu lukiiko lwa baminisita e Mmengo oluvannyuma abyanjulire Olukiiko balabe engeri bwe baanaabyanjula mu kkooti.

 Luvumiridde ekya Kabaka okumulemesa okwetaayiza mu nsi ye  bwe baamulemesa okugenda e Buluuli n’e Bugerere.
 Olukiiko luvumiridde gavumenti okutondawo abafuzi ab’ensikirano ab’ekimpatiira n’okubangawo obwakabaka obutabangawo mu Buganda.

Bawagidde olukiiko ttabamiruka olugenda okusunsula ensonga nnyingi omuli n’okulwanyisa obuli bw’enguzi.
Olukiiko luwakanyizza eky’enkola ya gavumenti okuleeta etteeka lya Regional Tier.

 Bavumiridde ekya Gavumenti okuziimuula enteeseganya wakati wa Kabaka  ne Pulezidenti Museveni  n’eyisa  etteeka ly’ettaka.

Mmengo egenda mu kkooti ku by’ettaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyeefudde agula essimu n'ag...

Bya Rosemary Nakaliri  Abasuubuzi b'oku Kaleerwe baazingizza ababbi abeefudde bakasitoma abazze okugula essimu...

Kayemba n'ensawo ye emweyagaza.

Kyama ki ekiri mu bbulifukk...

Geoffrey Kayemba Ssolo avuganya ku kifo ky’omubaka wa Bukomansimbi South ensawo ya Jjajja we emweyagaza.

Minisita Kibuule mu ssuuti ng'atongoza okusimba emiti gy'amasannyalaze.

Ab'e Nama bawonye okusula m...

Abatuuze mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono bafunye akaseko ku matama bwe babawadde amasannyalaze...

Kasingye ng'akwasa Omusumba Jjumba masiki.

Poliisi n'amagye byetondedd...

POLIISI n'amagye byetondedde Omusumba w'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa (mu kifaananyi ku ddyo) olw'okukuba...

Buchaman ne mukyala we nga bakwasa abaserikale ebyambalo by'amagye.

Buchaman awaddeyo ebyambalo...

OMUWABUUZI wa Pulezidenti ku nsonga za Ghetto, Mark Bugembe amanyiddwa nga Buchaman akwasizza ab’ebyokwerinda ebyambalo...