TOP

Bamunywesezza ebiragala ne bamusobyako

Added 27th October 2009

Oluvannyuma evvubuka lyazzeemu akategeera ne litegeeza nti omuwala baamunywesezza walagi.

Omuwala (amannya galekeddwa) abeera mu Kikaaya Zone A e Kanyanya. Omuwala ono abeera  wa mukungu akolera mu palamenti (naye amannya tugalese).

Omuwala yabadde mu sikaati nzirugavu ne bulawuzi. Y

Oluvannyuma evvubuka lyazzeemu akategeera ne litegeeza nti omuwala baamunywesezza walagi.

Omuwala (amannya galekeddwa) abeera mu Kikaaya Zone A e Kanyanya. Omuwala ono abeera  wa mukungu akolera mu palamenti (naye amannya tugalese).

Omuwala yabadde mu sikaati nzirugavu ne bulawuzi. Yabadde aggyiddwamu akawale k’omunda nga bamubambye nga yenna asaabaanye enkwaso mu bitundu by’ekyama. Ssapatu ze zaabadde kumpi n’akawale. Yabadde mu kasiko, mu bbanga lya miita nga 30 okuva ku kkubo kyokka nga taliimu wadde akategeera. 

Abantu abaabadde bayita mu kkubo ku ssaawa nga 4:30 ez’ekiro baawulidde enswagiro mu nsiko, kwe kutemya ku batuuze ne bafuna ttooci okugenda okulaba ekiguddewo.

Abavubuka badduse, kyokka omu kubo alabika ebiragala bye baawadde omuwala naye byamutamiizizza n’asigalawo era we baamusanze.

Baamukubye, ebiragala ne bimuggwaako n’agamba nti omuwala baabadde bamuwadde walagi.

Abatuuze baagambye nti omuwala yabadde acuuma omwenge nga kirabika  abaamusobezzaako baasoose kunywa naye mwenge. Omuwala yatwaliddwa mu kalwaliro k’omu kitundu n’ajjanjabibwa. Omuvubuka yatwaliddwa avunaanyzibwa ku byokwerinda agambibwa nti yamututte ku poliisi. Kyokka poliisi y’omu kitundu, omusango tegwatuusiddwayo.

 Baagambye nti guno mulundi gwakubiri ng’omuwala ono asobezebwako. Gye buvuddeko yagenda mu kinyumu n’abaako abavubuka abaamugulira omwenge oluvannyuma ne bamusobyako bwe baamukyamya mu nsiko nga bamuwerekera okuddayo eka.

 Atwala poliisi ya Universal evunaanyizibwa ku kifo kino, Grace Mutono, yategeezezza nti omusango guno tebaagututteyo. Kyokka  mu kitundu kino mulimu poliisi endala okuli Komamboga ne Kanyanya, kyokka nayo Bukedde yategeezeddwa nti tewali yatutteyo lipoota eyo.

 Mu kitundu ky’ kimu, omuvubuka Frank Bihangana yakwata omusipi gw’emmotoka n’atuga muganziwe Sylvia Komugisha bwe yamuteebereza okwagala omuvubuka omulala.
 

Bamunywesezza ebiragala ne bamusobyako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...