TOP

Minisita asanze omusawo mu ssabo

Added 2nd September 2009

Minisita yasoose kulagira Nsobya akwatibwe aggalirwe mu kkomera olw’obulagajjavu kyokka abakungu ba disitulikiti y’e Mpigi ne bamuwooyawooya amuddiremu.

Ate abasawo bonna 17 mu ddwaaliro ly’e Mityana, bakyusiddwa oluvannyuma lw’okulagajjalira omukazi woolubuto n’afa ng’azaala.

Minisita yasoose kulagira Nsobya akwatibwe aggalirwe mu kkomera olw’obulagajjavu kyokka abakungu ba disitulikiti y’e Mpigi ne bamuwooyawooya amuddiremu.

Ate abasawo bonna 17 mu ddwaaliro ly’e Mityana, bakyusiddwa oluvannyuma lw’okulagajjalira omukazi woolubuto n’afa ng’azaala.
Eggulo Minisita Malinga yagenze e Kammengo-Mpigi okulambula ebitundu omwafudde abantu nga kigambibwa nti walagi ye yabasse. Yasoose mu ddwaaliro lya Gavumenti e Butoolo, we yasanze ng’abasawo  tebaliiwo okuggyako omujjanjabi Deziranta Nagawa Kiwanuka yekka.

Minisita yasabye Nagawa essimu ya Nsobya n’amukubira. Nsobya yazze ne yeewozaako nti nnyina yabadde mulwadde nga obutabaawo yabadde amututte mu ddwaaliro Kampala.

Minisita kwe kubuuza: ddwaaliro ki? Ko Nsobya nti lya bwannannyini. Minisita n’agattako: linnya emmotoka yange tugende ontwaleyo.

Wano Nsobya kwe kugamba: ekituufu mbadde mmututte mu ssabo kubanga olumbe olumuluma luganda.

Minisita: Onswazizza nnyo ggwe omusajja omuyivu akulira eddwaaliro okusalawo okutwala nnyoko mu ssabo mu kifo ky’okumuleeta mu ddwaaliro n’omujjanjaba.

Kwe kulagira poliisi: Nsobya mumukwate mu-musibe. Kyokka omumyuka w’akulira abakozi era mu-wala wa Nsobya, Jesca Nda-gire ng’ali n’omumyuka wa Ssentebe w’e Mpigi, Frank Kawooya beegayiridde minisita asonyiwe Nsobya.

Mu kiseera kino abasawo baabadde bakomyewo n’a-bagugumbula olw’obulagajjavu n’abalabula nti abadde asazeewo kubasiba kyokka abawaddeyo omukisa beddeko bwe bataakikole alyo-ke abasibe n’okubagoba.

Yagenze ku byalo Bukabi, Kasozi ne Masaazi ebiri mu muluka Musa awaafudde abantu olw’okunywa walagi alimu obutwa. Abatuuze baakung’anyizza obuveera bw’ebika bya walagi ebyenjawulo ne babumulaga, Minisita ne yeewuunya nnyo amaanyi abatuuze ge bamalidde mu walagi ate nga n’ebika bye baamulaze ebimu tabiwulirangako.

Walagi kuliko African  Gin, Zed, Ruwenzori Gin, Viva, Royal Vodka, Planet, Prince Vodka, Empire n’ebirala.

Yayogedde n’abalwadde bana abaakasiibulwa bonna abakkirizza nti kituufu baanywa ku walagi.

Minisita yabadde n’aba-kugu okuva mu kitongole ky’Ebyobulamu (WHO) aba Uganda National Bureau of Standards n’aba minisitule y’Ebyobulamu.

Minisita asanze omusawo mu ssabo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...