TOP

Bookezza nnannyini ttaka

Added 17th August 2009

Samuel Kkubolikozza Bunjo omutuuze w’e Nawandagala mu Kayunga, yakedde kukulemberamu ekibinja ky’abapunta bataano abaavudde mu Kampala n’abatwala e Makukulu mu muluka gw’e Namaliri  mu Ggombolola y’e Kayonza mu Disitulikiti y’e Kayunga bamukubire ettaka lye erisangibwa mu kitundu kino.

Samuel Kkubolikozza Bunjo omutuuze w’e Nawandagala mu Kayunga, yakedde kukulemberamu ekibinja ky’abapunta bataano abaavudde mu Kampala n’abatwala e Makukulu mu muluka gw’e Namaliri  mu Ggombolola y’e Kayonza mu Disitulikiti y’e Kayunga bamukubire ettaka lye erisangibwa mu kitundu kino.

Abatuuze olwalabye Bunjo n’abantu be batategeera bulungi nga balambula ettaka okuli abasenze abasoba mu  800 baalowoozezza nti bagagga baleeteddwa kuligula n’oluvannyuma babagobaganye mu bibanja byabwe.

Beekunze ne batega  emisanvu mu kkubo ne balinda abapunta abaabadde ne Bunjo mu mmotoka yaabwe ey’ekika kya kabangali UAE 072Q.

Omu  ku bapunta bano Sylvester Amoko  anyumya bwati: Bwe twavunze akabanga katono nga twerula ensalo z’ettaka twekanze ebiti ebinene ebyabadde bisuuliddwa mu kkubo ne tusiba.

Olwabadde okuyimiriza emmotoka abantu abaabadde bakutte emiggo n’amajambiya baafubutuse mu nsiko era ne batubuuza lwaki twagala okugula ettaka kwe bali tubasengule

Mu kutya okw’ekitalo twalaajanye nti, ‘temututta ffe tetuzze kugula ttaka tuli basaveya wabula mukama waffe eyatuleese okukola omulimu wuuno tuli naye leka abannyonnyole’.

Amoko mupunta eyeekozesa kyokka nga musomesa mu Yunivaasite y’e Kyambogo mu kitongole ky’ebyettaka n’obupunta.

Bunjo yagezezzaako okunnyonnyola abatuuze nga bw’atalina kigendererwa kyakubatundira ku ttaka wadde okubagobaganya kyokka yalabye beeremye nga batandise n’okumukuba kwe kusalawo adduke kyokka ne bamugoba era yabadde atuuka emabega w’enju ya Kansala Dan Ziraba n’aseerera n’agwa ekigwo ne bamukwata ne bamukuba.

Baalabye agonze kyokka ng’akyalimu akateeteera  ne baleeta amafuta ne bamukulula ne bamutwala ku kabangali wamu n’ebyuma ebikozesebwa okupima ettaka Amuko by’agamba nti bibabalirirwamu ssente obukadde 50 ne bamwokya nabyo.

Abatuuze ebirowoozo byonna bwe baabizzizza ku Bunjo olwo ye Amuko ne banne ne beemulula ne badduka paka ku poliisi y’e Nakyessa gye beekukumye.

Oluvannyuma poliisi  yazze mu kitundu n’ekwata abantu mwenda okuli ssentebe wa LC 1, Anthony Kiwanuka, omuwandiisi ku kakiiko ka LC,  Onyango ne kansala w’omuluka gw’e Namaliiri Dan Ziraba era ono ekyamukwasizza poliisi yamusanze avulubanye omusaayi mu ngalo.

Amuko alumiriza nti nga tebannavuga mmotoka kugenda Makukulu baasoose kukubira ssentebe wa LC1 Kiwanuka ne bamutegeeza ku kujja kwabwe wamu n’abakakiiko k’ekyalo kyokka n’abeekweka era baatuuse mu kitundu nga n’essimu aziggyeko era nti ayinza okuba nga ye yakunze abatuuze ne babateega.

Amuko agamba nti yabadde ne bapunta banne abalala okuli Denis Kaggwa, Deo Obonyo, David Nsubuga ne Turyamuleeba kyokka bano baatemeddwa ebijambiya.

Okusinziira ku Vincent Kayeyera, muganda w’omugenzi, Bunjo ettaka lino okuli abasenze abasoba mu 800 yalisikira ku jjajjaawe Erukaana Bunjo.

Omuduumizi wa poliisi mu Disitulikiti y’e Kayunga, Charles Nuwagira yagambye nti okubuuliriza kukyagenda ku maaso okuzuula abalala abeetabye mu butemu buno.

Okuttibwa kwa Bunjo kuddiridde okwa Livingstone Ssekamatte, kayungirizi w’ebyettaka eyattibwa ku ntandika ya August mu kitundu ky’ekimu kino.

 

Bookezza nnannyini ttaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu