TOP
  • Home
  • Abanoonya
  • Minisita alagidde aba Owino babawe liizi batandike okuzimba

Minisita alagidde aba Owino babawe liizi batandike okuzimba

Added 7th August 2009

Mu kiseera ky’ekimu ne ssaabawolereza wa gavumenti afulumizza lipoota ku katale kano eyanise abamu ku bakulembeze b’ebibiina ebyenjawulo ebivuganya Kayongo.

 Mwesigye ekiragiro yakiwadde ku Mmande mu bbaluwa gye yawandiikidde Meeya Ntege Sebaggala n’awaako ne Pulezidenti Museven

Mu kiseera ky’ekimu ne ssaabawolereza wa gavumenti afulumizza lipoota ku katale kano eyanise abamu ku bakulembeze b’ebibiina ebyenjawulo ebivuganya Kayongo.

 Mwesigye ekiragiro yakiwadde ku Mmande mu bbaluwa gye yawandiikidde Meeya Ntege Sebaggala n’awaako ne Pulezidenti Museveni kkopi ssaako omuyambi we ow’ekyama ne ofiisi endala ezenjawulo omuli minisitule y’amateeka , Town Clerk Ruth Kijjambu ne ssentebe w’abasuubuzi Godfrey Kayongo Nkajja.

Ebbaluwa ya Ssaabawolereza wa gavumenti egamba nti J.B Kivumbi ne banne abaloopa nga beemulugunya nti ensonga z’okuzimba tezikwatiddwa bulungi ensonga zaabwe teziriimu ggumba.

“Ekibiina kyabwe si kiwandiise mu mateeka ate twabasaba olukalala lw’abasuubuzi baabwe  ne lubalema okuleeta, ” lipoota bw’egamba.

Mwesigye ne lipoota ya ssaabawolereza wa gavumenti eyakolebwa nga 23 July 2009 asemba ekibiina kya St. Balikuddembe Market Stalls and Lockup shops owners Association Ltd ekikulirwa Kayongo Nkajja kiweebwe liizi ku lw’abasuubuzi nga Pulezidenti Museveni bwe yalagira.

Kyokka KCC egamba nti kye basaba si kipya baali baakisalawo dda naye ng’abasuubuzi tebeetegese.
“Twayisa dda mu lukiiko lwaffe nga tusemba tubawe liizi era tugenda kugibakwaasa” omumyuka wa Meeya Florence Namayanja bwe yagambye.

Kyokka abeekiwayi kya J.B Kivumbi bino olwabiwulidde ne bawera nti tebajja kukkiriza Kayongo ne banne kuweebwa liizi.

“Tumaze okuwandiikira Pulezidenti nga twemulugunya ku lipoota eyakoleddwa ssaako ebbaluwa ya Mwesigye byonna byogera ku ludda lumu era bituuse n’okuletawo enjawukana mu basuubuzi olw’ebyobufuzi ebigirimu ekintu Pulezidenti kyatayagala mu byankulaakulaana,” Kivumbi bwe yagambye.

Minisita alagidde aba Owino babawe liizi batandike okuzimba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Kizito Lwanga (ku ddyo) Omusumba Kakooza ne Ssekamanya ( ku kkono) nga baganzika ekimuli ku kifaananyi  ky'omugenzi mu Lutikko e Lubaga.

Paapa akungubagidde Omusumb...

PAAPA Francis akungubagidde Bishop John Baptist Kaggwa n'amwogerako nga munnaddiini abadde tasangika. Paapa yagambye...

Tumukunde (ku ddyo) ng’agezaako okuyita ku baserikale. Oluvannyuma baamugaAnye okweyongerayo ewa Kyagulanyi.

Tumukunde bamugobye ewa Bob...

EGGULO ku Lwokutaano, Omubaka Robert Kyagulanyi Sentamu yabadde ategese okwogera eri eggwanga. Naye ng'ebyo tebinnabaawo,...

Titus Ssematimba eyateebedde Buddu (mu ddyo) ng’atwala omupiira ku muzannyi wa Bulemeezi.

Abaamasaza batolotoomye lwa...

Fayinolo y'Amasaza Gomba - Buddu Egyazannyiddwa ku semi; Busiro 0(4)-0(5) Gomba Bulemeezi 0-1 Buddu OBWAKABAKA...

Bobosi omuzannyi w'omupiira.

'Kye kiseera okwesiga Bobos...

"EKYASINZE okunsanyusa kwe kulaba nga mutabani wange Bobosi Byaruhanga ali ku katebe ka ttiimu y'eggwanga ey'abakulu....

Omusumba Joseph Tumusiime owa The heaven's gate Church of All Nations

Wuuno nnabbi eyalagula Trum...

Omusumba owa The heaven's gate Church of All Nationa avuddeyo n'akakasa okulagula kwe ku eyabadde omukulembeze...