TOP

Obwongo bwa Michael Jackson babuggyemu

Added 5th July 2009

Kino kitabudde abooluganda lwa Jackson nga bagamba nti omuntu waabwe talina kuziikibwa mu bibajjobajjo.

Abasawo nabo bakalambidde nga bagamba nti kibakakatako okuyamba poliisi okuzuula ekituufu ekyasse Jackson ate nga balina kukiggya ku bwongo.

Wadde lipoota yakolebwa ng’eraga enfa

Kino kitabudde abooluganda lwa Jackson nga bagamba nti omuntu waabwe talina kuziikibwa mu bibajjobajjo.

Abasawo nabo bakalambidde nga bagamba nti kibakakatako okuyamba poliisi okuzuula ekituufu ekyasse Jackson ate nga balina kukiggya ku bwongo.

Wadde lipoota yakolebwa ng’eraga enfa ya Jackson, abasawo bakyatankana ekituufu ekyamutta.  Kitaawe Joe Jackson yagambye nti mutabaniwe yaweebwa butwa era poliisi eggulo yakunyizza abasawo omukaaga okuli ne Dr. Conrad Murray abaludde nga bajjanjaba Jackson.

Olupapula lwa Sunday Mirror lwategeezezza nti abakugu baagambye nti okuzuula ekituufu balina kumala kwekebejja bwongo nti kyokka bulina kumala kukala ne bwekwata ekitole, olwo ne balyoka babufunako bye babwetaagako.

Mu bimu ku bye baagala okumanya kwe kuli ebigambibwa nti yaweebwa eddagala lingi nti lye lyamuviirako okufa oba okukubibwa empiso ey’omutawaana ey’eddagala lya Propofol erikozesebwa okusannyalaza abantu ababeera bagenda okulongoosebwa.

Abasawo baabadde baagala okuziika kuyimirizibwe okumala wiiki ezisukka mu bbiri nga bwe balinda obwongo okukala, wabula aba famire ya Jackson ne babigaana ne basemba waakiri obwongo buggibwemu busigale mu mikono gy’abasawo e Los Angeles, okuziika kuleme kuyimirizibwa.

Jackson agenda kusooka kusabirwa mu Staples Centre e Los Angeles ku Lwokubiri, oluvannyuma aziikibwe mu limbo y’e Forest Lawn Memo-rial Parks eriraanye eggwanika omulambo we gukuumirwa. Abasawo baategeezezza nti oluvannyuma obwongo nabwo bujja kuziikibwa.

Obwongo bwa Michael Jackson babuggyemu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabangali etomeddwa bbaasi yonna esaanyeewo mu kabanje akasse abantu abana e Mbarara.

Akabenje katuze 4 e Mbarara...

Abantu bana be bakakasiddwa okufiira mu kabenje akawungeezi kw'olwaleero ku kabuga k'e Rugando mu luguudo lwa Mbarara-Ntungamo...

Nakitto maama wa Amos Ssegawa (mu katono) eyattibwa.

Gavumenti etuliyirire obuwu...

BAZADDE b'abaana abattibwa bagamba nti ekya Museveni okubaliyirira si kibi bakirindiridde naye alina okukimaanya...

Ssendagire omu ku baakubwa amasasi n'afa.

Famire z'abattiddwa mu kwek...

PULEZIDENTI Museveni yayogedde eri eggwanga ku kwekalakaasa okwaliwo nga November 18 ne 19 nga kwaddirira okukwata...

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku bantu be.

Pulezidenti akunze aba NRM ...

Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti . Mu...

Abakuumaddembe nga batwala omulambo gw'omukazi eyattiddwa.

Ab'e Nansana beeraliikirivu...

Abatuuze b'e Nansana beeraliikirivu olw'abantu abazze bawambibwa ate oluvannyuma ne basanga nga battiddwa mu bukambwe....