TOP

Abantu beyiye mu Kiggunda kya Simba

Added 5th July 2009

Mu bamu ku bayimbi abamannya abaasoose mu ddiiro kwabaddeko Mariam Ndagire, Harriet Kisakye, Megga Dee, Bob Wine, Clever J, Kawooya owa Samads, Loketo Lee, Mamuli Katumba,  n’abalala. Ssaako abayimbi abato omwabadde Tabua Nattoolo, Zari Hassan abeera e South Africa, Leila Kayondo, Sarah Naava

Mu bamu ku bayimbi abamannya abaasoose mu ddiiro kwabaddeko Mariam Ndagire, Harriet Kisakye, Megga Dee, Bob Wine, Clever J, Kawooya owa Samads, Loketo Lee, Mamuli Katumba,  n’abalala. Ssaako abayimbi abato omwabadde Tabua Nattoolo, Zari Hassan abeera e South Africa, Leila Kayondo, Sarah Naava n’abalema abakulemberwa Kkolobba n’abalema b’ekibiina kya Abalema Tubebbere. 

Abayimbi bonna bakira batambulira ku siteegi eyabadde empanvu.

Abantu abawerako baawangudde ebirabo mu bululu obw’enjawulo obwakubiddwa omwabadde ne Julius Ddamulira ow’e Kireka eyawangudde pikipiki ey’ekika kya TVS ssaako n’abawangudde eggaali maanyi ga kifuba.

MTN yagabidde kumpi buli ku badigize abaasoose okuyingira ekisaawe nga tezinawera ssaawa 9.00 T-shirt n’akatambaala abasinga bwebaabadde basiba ku mitwe n’okuwuuba mu bbanga nga baliko omuyimbi abakyamudde.

Abakubi b’ebifananyi n’abatunda eby’okulya, n’ebintu ebirala omuli engatto, ebiwunde n’abalala baabadde beetala.

Eby’okwerinda byabadde binywezeddwa era abaserikale ba poliisi n’ebitongole by’obwananyini bakuuma butiribiri buli kanyomera omwabadde musuubirwa okukolebwa effujjo.

Abayimbi abalala ab’amannya baayimbye kumpi kukeesa budde ate bo abantu basala amazina obutasalako  ne banywa n’okulya ne bagangayira. Abaakoze effujjo erisusse  n’abakwatiddwa nga banyaga n’okusala ensawo  poliisi yabayodde era baasuze mabega wa mitayimbwa.

Abantu beyiye mu Kiggunda kya Simba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Walukagga ne muwala we e Maya.

Omuyimbi Walukagga awonye o...

Omuyimbi Mathias Walukagga alula. Ku Mmande, Walukagga yasiibye ku kitebe kya poliisi e Bukoto ekya Crime Intelligence...

Fr. Mugisha

Faaza w'e Masaka ayongedde ...

FAAZA Richard Mugisha eyagugumbula abanene mu Gavumenti nga bw'awaana Bobi Wine azzeemu okuta akaka n'alabula...

Omubaka Allan Ssewanyana ng'awayaamu ne bannamateeka be.

Omubaka Ssewanyana ayimbuddwa

OMULAMUZI wa kkooti y'e Makindye Jude Okumu ayimbudde omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana n'abawagizi be...

Omugenzi Takia Namijumbi.

Eyali RDC w'e Mityana afudde

HAJATI Takia Namijumbi eyaliko omubaka wa Pulezidenti (RDC) e Mityana n'e Mpigi afudde enkya ya leero. Waafiiridde...

Omugenzi Omulangira Jjuuko

Eyali ssentebe w'omu Kiseny...

OKUZIIKA kw'Omulangira Jjuuko Mutebi abadde ssentebe wa NRM mu Muzaana zzooni mu Kisenyi mu Kampala era eyaliko...