TOP

Omulambo banaguteeka mu kisaawe

Added 3rd July 2009

Enteekateeka z’okuziika Jackson ezitali nnambulukufu zitabudde abakungubazi naddala abo abaasoose okweyiwa mu makaage e Neverland we baabadde babasuubizza nti bagenda kubawa omukisa okulaba ku mulambo gw’omuyimbi waabwe eyafudde mu kiro ekyakeesezza  Olwokutaano lwa wiiki ewedde. Wabula oluvann

Enteekateeka z’okuziika Jackson ezitali nnambulukufu zitabudde abakungubazi naddala abo abaasoose okweyiwa mu makaage e Neverland we baabadde babasuubizza nti bagenda kubawa omukisa okulaba ku mulambo gw’omuyimbi waabwe eyafudde mu kiro ekyakeesezza  Olwokutaano lwa wiiki ewedde. Wabula oluvannyuma ab’omu nnyumba baavuddeyo ne bateegeeza nti tewali ajja kukkirizibwa kulaba ku mulambo.

Pulezidenti Barack Obama naye yafunye dda kkaadi emuyita ku mikolo gy’okusabira Jackson.
Emikutu gy’amawulire gyasoose kutegeezebwa nti Jackson wakuziikibwa ku Ssande kyokka nti abamu ku booluganda ne bakisimbira ekkuuli nga baagala Jackson aziikibwe ku Lwokubiri.

Bwe wataabeerewo kikyu-kamu, oluseregende lwa mmotoka nga 30 lusuubirwa okuva ku ggwanika lya Forest Lawn mu Los Angeles n’omulambo gwa Jackson ku Lwokubiri lwolekere ekisaawe ky’omupiira gwa Basketball ekya ttiimu ya L.A Lakers ekiyitibwa  Staples Centre basabire omugenzi ku ssaawa 4:00 ez’oku makya eza Amerika (mu Uganda essaawa 12 ez’olweggulo) oluvannyuma aziikibwe.

Mu limbo ya Forest Lawn wennyini we waziikibwa jjajja wa Jackson, Martha Bridges. Ekisaawe kino ekya Staples Centre we yakoma okwegerezaamu nga June 23 ne wayita ennaku bbiri n’afa, era kituuza abantu 20,000.

Aba Kkampuni ya EGC Live ebadde etegeka ebivvulu bye mu London era yafulumizza entambi za vidiyo nga ziraga Jackson ng’ayimba era nga taliiko kalwadde konna.

Sanduuke omuli omulambo yaakuleetebwa mu Staples Centre kyokka omulambo olw’abatwala ekibu-ga Los Angeles baagambye nti basuubira abantu abangi abatali bayite okujja okwetaba ku mukolo guno, ekifo kya Nokia Theatre ekiteebaganye ne Staples Centre nakyo kisuubirwa okukozesebwa.








Omulambo banaguteeka mu kisaawe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mondo Mugisha ng’ayogera eri abaamawulire. Emabega be bakanyama abassiddwa ku kkanisa okukuuma. Tunuza kkamera y’essimu yo mu kalambe olabe vidiyo.

Pasita Ssenyonga mumuboole ...

Omusumba Mondo Mugisha y’omu ku bakungubazi abeetabye mu kukungubira Paasita Yiga Abizzaayo e Kawaala. Mu butaluma...

Kayanja ng'ali mu situdiyo ye.

Wuuno 'mutabani wa Nabbi Ka...

JOB Kayanja y’omu ku ba pulodyusa abeekoledde erinnya. Wadde abayimbi tebakyakola olw’omuggalo gwa ssennyiga omukambwe,...

Pasita Kayiwa mu lumbe.

Paasita Kayiwa ayogedde ens...

Omusamize yandabula nti nali waakufa mu nnaku musanvu, kyokka ekyewuunyisa ate ye yafa ku lunaku olw’omusanvu....

Ekyatutte Paasita Bujjingo ...

Omusumba w’ekkanisa ya House of prayer Ministry International, Aloysius Bugingo yagugumbudde abantu abaavuddeyo...

Omugenzi Yiga yali ne Nabbi Omukazi.

Ebigambo bya pasita Yiga eb...

OMUSUMBA Augustine Yiga Abizzaayo ow’ekkanisa ya Christian Revival Church Kawaala abadde mwogezi akunkumula n’ennyenje...