TOP
  • Home
  • Abanoonya
  • Omuwala eyakattikkirwa ddiguli abazigu bamussizza katayimbwa

Omuwala eyakattikkirwa ddiguli abazigu bamussizza katayimbwa

Added 2nd July 2009

Omutemu yalese Namutebi 25, agudde wansi ataawa n’adduka. Abadduukirize baayoddeyodde Namutebi ne bamutwala e Mulago gye yafiiridde nga baakamutuusaayo.

Namutebi muwala wa Mw. Musoke Ssegane, omutuuze w’e Nansana mu West I Zooni era omubuulizi w’enjiri kayingo mu Bulabirizi bw’

Omutemu yalese Namutebi 25, agudde wansi ataawa n’adduka. Abadduukirize baayoddeyodde Namutebi ne bamutwala e Mulago gye yafiiridde nga baakamutuusaayo.

Namutebi muwala wa Mw. Musoke Ssegane, omutuuze w’e Nansana mu West I Zooni era omubuulizi w’enjiri kayingo mu Bulabirizi bw’e Namirembe. Mumanyifu nnyo mu Bussaabadinkoni bw’e Kazo. Mukyala Ssegane ye Mukubiriza w’Abakrisitaayo e Kazo.
Kyokka Namutebi azaalibwa mukyala mulala, Rose Nabukeera.

Namutebi yatikkirwa diguli e Makerere mu January omwaka guno, kyokka okuva olwo abadde akolera kkampuni etunda eddagala ly’Abachina eya Tianshi.

Bukya amala kusoma abadde abeera wa Ssenga we, Margaret Nakibuuka naye abeera mu Nansana West I Zooni. Nakibuuka (ssenga wa Namutebi) agamba nti omugenzi yavudde awaka ku ssaawa 12 ez’oku maliiri, kyokka oluvannyuma lw’eddakiika nga 20 zokka. Mutabani wa muliraanwa waabwe n’ajja okumutegeeza nga Namutebi bwe yabadde akubiddwa akatayimbwa okumusanga n’obutamusanga.   

“Nnatuuse we baamukubidde ng’avaamu omusaayi mungi mu kamwa ne mu nnyindo. Okumpi ne we yabadde waabaddewo akatayimbwa”, bwe yategeezezza.

Waliwo omutuuze eyalabye omuvubuka ng’adduka n’ensawo y’ekikazi ng’ono y’ateeberezebwa okutta Namutebi.
Emmotoka yafuniddwa, Namutebi n’atwalibwa e Mulago gye yafiiridde.

Nnyina w’omwana ono Nabukeera agamba nti yabadde ne muwalawe ono ku Lwokusatu akawung-eezi ne balya bombi eky’eggulo. 

“Omwana wange yabadde ng’ansiibula bwe yantegeezezza nti ewa Ssenga we yabadde agenda kuvaawo apangise enju eyiye”, Nabukeera bwe yagambye.

Ssegane yagambye nti abadde ategeka kuzzaayo muwala we Makerere asome diguli eyookubiri mu byobusuubuzi.
Atwala Poliisi y’e Kawempe, Simon Wafana yategeezezza nti baakutte Hassan Kiwuuwa ow’e Nabweru ng’ateeberezebwa okuba nga ye yasse Namutebi.

Yasangiddwa n’essimu y’omugenzi  oluvannyuma lwa poliisi oku-gikuba Kiwuuwa n’agyoge-rerako ne bamunoonya nga bwe bagikuba okutuusa lwe baamukutte nayo n’ebintu by’omugenzi ebirala.

Namutebi awezezza abantu bataano abaakakubwa obutayimbwa e Nansana mu myezi ebiri. Kuliko: Magala, Kyambadde, Turyakayo ne Kalyango.

Omuwala eyakattikkirwa ddiguli abazigu bamussizza katayimbwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...