TOP

Michael Jackson wakuziikibwa mu limbo

Added 2nd July 2009

Okutwalibwayo ggwaggyiddwa mu ggwanika ly’e Hollywood Hills. Famire ya Michael Jackson yabadde erindiriddwa okusalawo eggulo ku by’okuziika. Okusooka kyabadde kitegeezeddwa nti Jackson bw’anaaziikibwa mu limbo, oluvannyuma agenda kuzzibwayo aziikibwe mu kifo ekirala eky’obwannannyini. Ng’o

Okutwalibwayo ggwaggyiddwa mu ggwanika ly’e Hollywood Hills. Famire ya Michael Jackson yabadde erindiriddwa okusalawo eggulo ku by’okuziika. Okusooka kyabadde kitegeezeddwa nti Jackson bw’anaaziikibwa mu limbo, oluvannyuma agenda kuzzibwayo aziikibwe mu kifo ekirala eky’obwannannyini. Ng’okusooka okumuziika mu limbo kikoleddwa okwewa obudde okusaba n’okufuna olukusa olumuziika mu kifo ekitali limbo.

Mu Amerika abantu baziikibwa mu limbo. Ayagala okuziikibwa mu kifo ekirala kyonna asooka kuwandiikira Gavumenti n’awa ensonga lwaki aziikibwa mu ngeri yanjawulo, ensonga ezo ne zitwalibwa mu kkooti omulamuzi n’asalawo oba zirimu eggumba.

Abafamire ya Jackson baavuddeyo ne bawakanya ekiwandiiko ekyasoose okufulumizibwa nga kiga-mba nti waabaddewo ente-ekateeka ezimuziika mu lubiri lwe olw’e Neverland Ranch. 

Baagambye nti tekisoboka kubanga ebintu ebisinga mu lubiri luno Jackson yabitunda ate nga nalwo lwolekedde kutundi-bwa. Ne bw’aba waakuziikibwamu kkooti tesobola kubawa lukusa kubanga tewali ajja kulabirira malaalo ge wadde okulabirira ekifo ekyo.
Buli mwaka, Jackson abadde asasula doola obukadde 3 mu misolo eri Gavumenti okumukkiriza okubeera n’ekifo ekigazi bwekityo (Olubiri lwe luliko mayiro 5).

Abooluganda lwa Jackson era baawakanyizza ebyabadde bigambibwa nti omulambo gwa Jackson gwakuleetebwa mu Neverland okukubwako eriiso evvannyuma leero ku Lwokutaano kyokka ne bagamba nti wandibaawo omukolo gw’okumusabira.
Lwo olunaku lwennyini olw’okuziika abooluganda lwa Jackson bakyalusiri-kidde ng’ensonda ezimu zigamba nti Ssande ate ezindi nti wiiki ejja.

Okusika omuguwa mu ba famire ku by’enziika kukyali kunene kubanga Jackson teyayogera ku bya nziika ye mu kiraamo kye yakola nga July 7, 2002.

Abooluganda baatumizza ebyuma ne seminti ow’amaanyi bye bagenda okukozesa okunyweza amalaalo ga Jackson olw’okutya nti abawagizi be abaamutamiira obwenge, bayinza okugayiikuula nga baagala okumuggyako ebintu bye banaamujjukirirangako.

Michael Jackson wakuziikibwa mu limbo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...