TOP

Babuuliriza ku biragala ewa Jackson

Added 2nd July 2009

Poliisi mu kibuga Los Angeles egamba nti eddagala lino eriyitibwa Propofol likozesebwa mu kusannyalaza abantu abagenda okulongoosebwa baleme kuwulira bulumi era terikkirizibwa kukozesebwa bweru wa ddwaaliro.

Ekitongole kya Amerika ekirwanyisa ebiralaga ekya Drug Enforcement Agency (DEA)

Poliisi mu kibuga Los Angeles egamba nti eddagala lino eriyitibwa Propofol likozesebwa mu kusannyalaza abantu abagenda okulongoosebwa baleme kuwulira bulumi era terikkirizibwa kukozesebwa bweru wa ddwaaliro.

Ekitongole kya Amerika ekirwanyisa ebiralaga ekya Drug Enforcement Agency (DEA) nakyo kyegasse ku Poliisi okuzuula ababadde babbirira eddagala ery’amaanyi ne baliwa Micheal Jackson.

Mu birala ebyasangiddwa mu nnyumba Jackson mwabadde abeera ge macupa g’empiso agateeberezebwa nti omusawo ge yakozesa okukuba Jackson Propofol.

Lipoota y’omusawo eraga ekyasse Jackson egenda kutunulwamu okulaba oba erina akakwate n’eddagala lino era bwe kinaakasibwa abayambi ba Jackson n’abasawo okuli Dr. Conrad Murray, Omar Arnold ne Jack London babuuzibwe akana n’akataano ku ngeri eddagala lino gye lyatuusibwa ku Jackson kubanga b’abadde atera okukolagana nabo okumufunira eddagala ery’amaanyi.

Ate Joe Jackson, kitaawe wa Micheal Jackson bakamutemye nti teri kiraamo kirala okuggyako ekyo mutabaniwe kye yakola mu 2002 n’atamuwa kantu konna ng’amulanga okumutuntuza ng’akyali muto.  Laba ne p.29

Babuuliriza ku biragala ewa Jackson

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mondo Mugisha ng’ayogera eri abaamawulire. Emabega be bakanyama abassiddwa ku kkanisa okukuuma. Tunuza kkamera y’essimu yo mu kalambe olabe vidiyo.

Pasita Ssenyonga mumuboole ...

Omusumba Mondo Mugisha y’omu ku bakungubazi abeetabye mu kukungubira Paasita Yiga Abizzaayo e Kawaala. Mu butaluma...

Kayanja ng'ali mu situdiyo ye.

Wuuno 'mutabani wa Nabbi Ka...

JOB Kayanja y’omu ku ba pulodyusa abeekoledde erinnya. Wadde abayimbi tebakyakola olw’omuggalo gwa ssennyiga omukambwe,...

Pasita Kayiwa mu lumbe.

Paasita Kayiwa ayogedde ens...

Omusamize yandabula nti nali waakufa mu nnaku musanvu, kyokka ekyewuunyisa ate ye yafa ku lunaku olw’omusanvu....

Ekyatutte Paasita Bujjingo ...

Omusumba w’ekkanisa ya House of prayer Ministry International, Aloysius Bugingo yagugumbudde abantu abaavuddeyo...

Omugenzi Yiga yali ne Nabbi Omukazi.

Ebigambo bya pasita Yiga eb...

OMUSUMBA Augustine Yiga Abizzaayo ow’ekkanisa ya Christian Revival Church Kawaala abadde mwogezi akunkumula n’ennyenje...