TOP
  • Home
  • Abanoonya
  • 'Meeya w'ababi 'laavu'' gy'andaga sigirootangako

'Meeya w'ababi 'laavu'' gy'andaga sigirootangako

Added 7th January 2014

Eyafuna omusajja okuva ku Bukedde Ttivvi atenderezza omukwano gw’amulaga n’agamba nti tegusangika.



 


Eyafuna omusajja okuva ku Bukedde Ttivvi atenderezza omukwano gw’amulaga n’agamba nti tegusangika.

Justine Nassaazi 24, omutuuze w’e Matugga agamba okufuna John Ssenyonga yamulabira Bukedde Ttivvi ku pulogulaamu ekubirizibwa Phillip Kaggwa kwe baava okuwuliziganya oluvannyuma lw’okufuna essimu ye.

Okuva olwo era babeera bonna n’okutuusa olwaleero. "Okusinziira ku bbanga lye mmaze ne baze ebintu bitutambulira bulungi kuba omusajja tanjuza mu bintu naddala okundaga omukwano, ekisinga
okumunjagaza amalako mu buli kimu kuba ankolera buli kimu kye njagala era asinga bangi," bwatyo Nassaazi bwe yakaatirizza.

Okuva lwe twasalawo okubeera ffenna bingi bye tusobodde okutuukako omuli okwezimba, okunyweza omukwano gwaffe n’ebirala.

Okusinziira ku ngeri baze gye yeeyisaamu, buli kimu akikola n’obwegendereza era ebiseera ebisinga asooka kunneebuuzaako.

Laba wano nga yakamufuna:Eyalabikira mu Bukedde yeewangulidde embooko

Mu kiseera kino kye nsinga okwagala ankolere kwe kugenda ewaffe mu bakadde bange mmwanjule basobole okumuteegera mu butongole era tuli mu ntegeka.

 

Ate John Ssenyonga eyeeyita ‘Meeya w’ababi’ nga mutuuze w’e Matugga ku lw’e Bombo agamba nti kati aliisa buti ng’enjogera y’ennaku zino bw’egamba kuba yawona okuggwa mu masepiki, okwoza engoye, okusulirira ebikomando n’abawala abafere ba laavu.

Kuno yagasseeko omukubamu n’oluyimba olumuwaana lw’atuumye Ekimuli kya meeya.

EYAFUNA omusajja okuva ku Bukedde ‘Meeya w’ababi ‘laavu’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Kaggwa ng'asala keeki n'abamu ku bataka b'ekika ky'Embogo.

Katikkiro Mayiga alabudde a...

EBYA poliisi okukuba omukka ogubalagala ku mukolo gw'abeekika kye Embogo biranze, Mmengo bw'etadde Gavumenti ku...

Abaserikale nga batwala omuvubuka gwe baakutte.

Ababazzi ku Bbiri bataayizz...

ABABAZZI b'oku Bbiri bataayizza abavubuka abagambibwa okuba mu kabinja akatigomya abantu ne babakuba.  Akabinja...

Minisita Kasolo ng'ayogera

Kampala mugigye mu by'obufu...

Minisita omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, yennyamidde olwabantu abafudde Kampala...

Paasita Yiga

Paasita Yiga mulwadde muyi

EMBEERA y'omusumba w'ekkanisa ya Revival Christian Church e Kawaala, Augustine Yiga yeeraliikirizza abagoberezi...

Namuli kati atunda nnyaaya e Kyengera.

Abaana be nasomesanga bansa...

Nga tukyatunuulira engeri ekitiibwa ky'abasomesa gye kityobooddwaamu, Teopista Namuli, akulira essomero lya Wonderworld...