TOP

Nnoonya omusajja amanyi omukwano

Added 6th May 2014

Njagala musajja amanyi omukwano, eyazimba, alina omulimu ogw’obuvunaanyizibwa nga mwetegefu okugenda okumwanjula mu bakadde, ng’ali wakati w’emyaka 40-60. Sifa ku ggwanga.GGWE ANI ?
Nze Sarah Nambi (mu kifaananyi)

Obeera wa?
Mbeera Zzana ku lw’e Ntebe.

Olina emyaka emeka?
Ndi wa myaka 30.

Ozaalibwa wa?
Namayingo mu Busoga, era ndi Musoga.

Wafumbirwako?
Kituufu nnyo era nnazaalako omwana omu.

Kiki ekyakuggya mu bufumbo?   
Ekyannemesa omusajja lwa kuba nti tetwali ba ggwanga limu. Bakadde be baali bamwagaliza wa ggwanga lye.

Kati wayiseewo bbanga ki?
Kati tuli mu myaka ebiri nga twawukanye.

Kati oyagala wa  bisaanyizo ki?
Njagala musajja amanyi omukwano, eyazimba, alina omulimu ogw’obuvunaanyizibwa nga mwetegefu okugenda okumwanjula mu bakadde, ng’ali wakati w’emyaka 40-60. Sifa ku ggwanga.

Abakwetaaze bakoze batya okukufuna?
Bankubire ku ssimu 0787273890.

NZE Godfrey Wakooli. Mbeera Kateete mu Mukono. Nnasoma. Nnoonya omukazi ow’okuwasa. Njagala atya Katonda, ow’empisa, alina omulimu era ng’alina okwagala. Kuba ku 0754448672, 0779064369.

Nze Mike. Mbeera Kawuku. Njagala omuwala ow’emyaka 18-22. Nze nnina emyaka 25. Ndi musomesa. Ali siriyaasi akube 0754951416.

Nze Moses Nsubuga. Mbeera Kawaala. Nnina emyaka 45. Njagala alina siriimu, eyeesobola ow’emyaka 35-60. Kuba 0785913595.

Nze JB. Njagala omukazi ow’emyaka 25-45, eyazaalako nga mwetegefu okwekebeza omusaayi. Kuba tobiipinga 0774939703.

Nnoonya omukazi ow’empisa, atya Katonda, asobola okukola, omulungi, eyazaalako, ow’emyaka 19-26, Omusoga ng’amanyi omukwano mmuwase. Nze ndi wa myaka 35. Kuba 0784585834.

Nze Jose. Nnina emyaka 29. Ndi mweru. Mbeera Kampala era nkola.Ndabika bulungi. Njagala omukazi ow’emyaka 18-25, omukkakkamu, omulungi, atalina mwana ng’akola. Sifa ku ggwanga oba eddiini. Omuyaaye tokuba. Tujja kwekebeza omusaayi. Kuba 0759626848, 0706656509.

Nnoonya omukazi Omusiraamu nga mwetegefu okwekebeza omusaayi n’okuntwala ewaabwe annyanjuleyo. Kale ne bw’oba wazaalako sifaayo kasita obanga oli mweru nga n’empisa olina. Anneetaaze nkubira ku 0781619826.

Nnoonya omuwala omulungi anakkiriza okubeera nange, omwesigwa nga si muyaaye nga wa myaka 18-21. Nze nnina emyaka 21. Njagala gwe tunaateesa naye ne tutandika naye obulamu. Nkola era ssente zino zisobola okutubeezaawo. Kuba 0783575325.

 

NZE Harriet Nansereko 30 (mu kifaananyi.) Mbeera Naggulu. Nnina abaana basatu. Nnoonya omwami ow’okubeera naye obulamu bwange bwonna. Njagala akuze ebirowoozo, eyazimba, tapangisa ng’asobola okundabirira era nange mmulabirire n’okumulaga omukwano.

Njagala bufumbo tulyoke tukole amaka. Ne bw’aba alinayo abaana nja kubalabirira. Sisosola ggwanga wabula nga tasussa myaka 50. Kuba 0783091758.

Nnoonya omukazi omukkakkamu, ow’ekitiibwa, ow’empisa ng’alina ssente. Nze Rayern ,26. Ndi mukkakkamu era nnina eddiini. Omwetegefu okubeera nange kuba 0752288658.

Nnoonya omukazi alina ssente ng’ayagala omukwano. Siri muyaaye era sibyagala. Nnina emyaka 28. Njagala omukazi wa myaka 28-38. Kuba 0772165440.

Nnoonya omukazi amanyi omukwano, alinawo ne ku ssente nnange ninawo era sipangisa ate nneekozesa. Kuba 0777798188.

Nnoonya omukyala amanyi omukwano, alina empisa, ow’emyaka 18-30. Eyeddira Ente n’Ennyonyi totawaana. Nze nnina emyaka 38. Tujja kwekebeza omusaayi. Kuba 0775961703.

Nze Mubiru S. Nnina emyaka 29. Mbeera mu Kampala. Nnoonya omukyala akuze mu birowoozo, eyazaalako kuba nange nnazaalako nga wa myaka 25-52 tukole omukwano ogwa nnamaddala. Kuba 0782193720.

Nnoonya omukazi ow’emyaka 18- 25, omulungi ng’ayagala okukola. Ne bw’oba tolina ssente naye ng’olina empisa. Ndi wa myaka 28. Kuba 0759094761.

Nze nnina emyaka 28 era nkola. Njagala omukyala omulungi, alina empisa n’omulimu, ow’emyaka 19-24 nga mwetegefu okukola obufumbo nange. Njagala anaawa bazadde bange ekitiibwa ng’atya Katonda. Kuba 0784785883.

Nze Tony Ssegujja. Nnina emyaka 27. Nnoonya sugammami tutandike laavu. Ali siriyasi kuba 0781471048.

Nze John 50. Njagala omukazi ow’emyaka 35-40, omutonotono, Omulokole, Omusumba oba omuweereza omukulu mu Kkanisa, alina ku kasente ampase. Nze ndi mwetegefu okumukolera Kkanisa ennene. Ndi munenene era ndabika bulungi. Kuba 0753333 134. Omuyombi totawaana.

Nze Jussy 25. Nnoonya omukyala nga munene, afaanana bulungi, ali wakati w’emyaka 25-35. Omutuufu kuba 0706662470 twogere.

Nze Rashid Wassajja. Mbeera Wakiso. Nnina emyaka 29. Njagala omukyala Omusiraamu, ow’emyaka 18-27 , Omuganda nga wa ddembe. Ali siriyaasi nfunira ku 0706414216 twogere ebisingawo.

Nnoonya omuwala ow’okuwasa nga munene era mweru. Njagala yasomako, ali wakati w’emyaka 18-28. Ne bw’aba takola nja kumuwa omulimu. Nze John. Nnina emyaka 37. Nkubira ku 0784712906/0701712906. Atali siriyaasi tokuba.

Nnoonya omukyala Omunyarwanda, ow’akabina akanene oba Omuhima, Omunyankole ng’ali ku ddagala lya siriimu. Njagala atasussa myaka 28. Nkubira 0701076289.

Nnoonya omukzai ow’okuwasa ng’alina siriimu. Njagala Musiraamu yekka. Mwambalampale ne mmini totawaana. Kuba 0752124417.

Nnoonya omukyala Omusoga oba Omusamya nga wa myaka 25-38. Sifa ku ddiini. Nze Godfrey N. Ali siriyaasi kuba 0782724148 oba 0703698569.

NZE Nancirror Namugerwa. Nnina emyaka 22. Njagala omusajja ow’emyaka 35-60, Omuganda, Omunyarwanda oba Omusoga nga mugagga. Kuba 0751130756.

Nnoonya omwami omuntumulamu ate nga wa buvunaanyizibwa. Nnina emyaka 26. Kuba 0775479O56.

Nze Tina. Nnoonya omusajja atya Katonda, asobola okundabirira, ow’emyaka 30 n’okudda waggulu nga munene. Kuba 0756604355.

Nze Nansubuga. Nnina emyaka 37. Njagala omusajja wa myaka 38-50, Omusiraamu alina Iman, alina amaka ge. Njagala anampoowa. Saagala mwenzi. Nnazaalako. Tujja kwekebeza omusaayi. Ali siriyaasi kuba 0758140775.

Nnina emyaka 28. Nnoonya omwami omwesimbu, omukkakkamu, eyeewa ekitiibwa, alina eddiini, atya Katonda, ow’empisa. Ateekwa okuba nga mwetegefu okwekebeza omusaayi, alina omulimu, era ng’alina ssente ezinaatubeezzaawo. Njagala omwetegefu okumwanjulira bazadde bange. Ali siriyaasi kuba 0700160414.

Nze NH. Ndi ku ARVs. Ndi wa myaka 30. Nneetaaga omusajja ali ku ddagala lya ARVs mmufumbirwe. Njagala wa myaka 35-45, atalina mukazi, alina omulimu ogw’obuvunaanyizibwa kubanga nange nkola. Ateekwa okuba nga talina mukazi ate nga mwetegefu okwongera ssente mu bizinensi yange. Kuba 0756992072.

Nze Florence. Nnina emyaka 29. Nnoonya omusajja ow’emyaka 30-40, alina ku ssente, eyazimba, omwetegefu okukyala mu bakadde bange. Sifa ku ddiini. Nneddira Ngabi. Ndi wa kitema, wa katakketakke Njagala omusajja omwetegefu okugenda mu musaayi. Saagala wa bodaboda, wa takisi.
Ali siriyaasi kuba 0785086997.

 

Nnoonya omusajja amanyi omukwano

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...