TOP

Nakoowa abakazi abaddugavu

Added 16th September 2014

Oyagala mukazi afaanana atya? Njagala ow’okuwasa mulage laavu ate nga mweru nga nze.

Amannya go?
Nze Andrew Kaggwa (waggulu).

Olina emyaka emeka?
Nnina emyaka 21.

Obeera wa?
Mbeera Wankulukuku.

Wazimba?
Sinnaba naye nga nnaatera.

Oyagala mukazi afaanana atya?
Njagala ow’okuwasa mulage laavu ate nga mweru nga nze.

Lwaki oyagala mweru?
Saagala kuzaala baana baddugavu.

Akwagala akufuna atya?
Ankubira ku ssimu 0784539107.

NZE Edith Namakula, mbeera Makindye. Nnina emyaka 30, njagala omwami ali wakati w’emyaka 35 -40 nga Muganda. Njagala gwe nnabeera naye nga mwetegefu okwekebeza omusaayi. Ali siriyaasi kuba 0793009167.

NNINA emyaka 28 era nasoma. Nnoonya omusajja Omuzungu nga wa mpisa, mulokole, alina ku ssente ate nga mwetegefu okuwasa. N’omuddugavu nga toli muyaaye nkwaniriza wadde nga nsinga kwagala ava mu nsi z’ebweru. Asiimye wandiika ku mbabrenda432@gmail.com teekamu n’ekifaananyi kyo. Weetegeke okwekebeza omusaayi.

NZE Mariyamu Birungi, mbeera Hoima. Njagala omwami omutuukirivu ng’ali siriyaasi okukola obufumbo. Njagala ali wakati w’emyaka 35 - 40. Nnina emyaka 32 n’abaana babiri. Alina siriimu tokuba. Njagala omusajja alina ku baana ate ng’asobola okulabirira amaka. Alina omulimu ate ng’anaasobola okundabirira kuba 0777222988.

NNOONYA omusajja nga Musiraamu ate nga mwetegefu okuwasa. Njagala alina eddiini ate ng’amanyi n’amateeka agafuga okuwasa. Njagala ali wakati w’emyaka 35 - 40, nze nnina emyaka 31. Amannya nze Latifah . N, mbeera Nateete Buziga. Kuba 0789148150.

Amannya go?
Nze Robinah Nakitende
(mu kifaananyi).

Obeera wa?
Mbeera Gaba.

Ye weddira ki?
Neddira Lugave.
 

Ozaalibwa wa?

Nzaalibwa Mukono.

Obuzibu osinze kubusanga wa?
Nnina ekizibu kyobutalaba n’obutaba na musajja.

Eby’obufumbo obisobola?
Tewali kye sisobola kuba nsobola okufumba, okwoza engoye n’ebirala byonna.

Oyagala musajja alina bisaanyizo ki?
Njagala omwetegefu okwekebeza omusaayi, asobola okunjagalira mu mbeera yonna gye ndimu, alina omulimu ogusobola okutubeezaawo, wakati w’emyaka 25 - 40, amanyi omukwano nga mwetegefu okukyala mu bakadde bange. Ndi ku ssimu
0702306368

NDI wa myaka 47, nkuze mu myaka n’ebirowoozo, ndi munene n’obuwanvu obwekigero era ndagwa mu bantu. Njagala omwami akuze mu birowoozo nga wakigero mu bunene bwo n’obuwanvu era ng’alagwa mu bantu. Njagala alina empisa, alina omulimu gw’obuvunaanyizibwa, yeewa ekitiibwa atali muyaaye ng’ali wakati w’emyaka 50 - 65 ng’alina amaka.Tujja kusooka kwekebeza omusaayi n’oluvannyuma tunoonye ky’okukola. Anoonya sugammami, afuuwa ssigala, Omulokole, omutono, omumpi n’atali siriyaasi temutawaana. Kuba 0754504633 okuva ku ssaawa 10:00 ez’akawungeezi.

NDI wa myaka 30. Njagala omusajja ali siriyaasi ate nga mwetegefu okuwasa. Njagala ali wakati w’emyaka 30 - 50. Njagala alina ku ssente , atya Katonda ate nga tabeera mu kyalo. Kuba 0758692807.

NZE Kato Joe Oscar. Njagala sugammami eyeetongodde ng’alina ennyonta y’omukwano. Njagala atya Katonda ate ng’anjagaliza okukola. Kuba 0704688860.

NZE Charles Lubega, nnina emyaka 27. Njagala ali wakati w’emyaka 20 - 35 asobola okugumiikiriza obwavu. Kuba ku ssimu 0750535734.

AMANNYA gaffe maama?
Nze Sharifah Nantume
(mu kifaananyi).

Obeera wa?
Mbeera Kawempe.

Olina emyaka emeka?
Nnina emyaka 21.

Weddira ki?
Neddira Mbogo.

Olina abaana bameka?
Sizaalangako era sifumbirwangako.

Musajja alina kubeera na bisanyizo ki?
Omusajja gwe njagala alina okuba Omusiraamu, alina ku ssente nga wa myaka 30 n’okweyongerayo nga mwetegefu okumwanjula mu bazadde bange n’okunkolera bizinensi.

Olwo aba akusiimye akufuna atya?
Ndi ku ssimu 0786797063.

NZE Vicent Walakira, nnina emyaka 30. Njagala sugammami ng’alina ssente wadde nga nnange nnina. Njagala ali wakati w’emyaka 35 - 50. Mbeera Makindye. Kuba 0755244930.

NZE Dalton, ndi mu Sudan nga nnina emyaka 35. Nnasoma era nkola. Njagala omukyala ali wakati w’emyaka 30 - 40 afuuke mukwano gwange, mwagalwa wange ate mukyala wange gwe tuneesigang’ana mu mukwano ogw’ekyama oba ogw’obufumbo. Njagala alabika bulungi ate nga takyasabirwa mu byanfuna. Eyeesobola kuba +211955139024.

NNOONYA omukazi omulungi, muntumulamu nga wabuvunaanyizibwa. Njagala ali wakati w’emyaka 30 - 40. Tusooka kwekebeza musaayi. Saagala mumpi, azaala era saagala muyaaye. Kuba 0715347710 oba 0774676042.

NNINA emyaka 45. Njagala omukyala atali Musiraamu ng’aweza emyaka 30. Njagala atali ku byakuzaala ate nga mwetegefu okufumbirwa. Asiimye kuba 0754357097 oba 0730055052. Saagala abiipinga n’ow’Envuma totawaana.

Nze Simon Musisi, mbeera Kammengo e Mpigi. Ndi Mukatoliki ayagala ennyo eddiini yange. Nnina emyaka 23 era siwasangako. Nnina omulimu wabula nkyapangisa. Njagala omukazi alina omulimu ne bwe guba si gwa bbeeyi nnyo. Njagala amanyi omukwano ate nga mwetegefu okunzaalira atang’aane kucakala kuba ndi musajja anyumirwa ebyamasanyu. Omusiraamu saagala wabula sisosola mu mawanga. Asiimye kuba ku 0789-085235.

NZE Geoffrey Makumbi, mbeera Kyabakuza Masaka. Njagala omubeezi nga tasukka myaka 26 ng’ewaabwe balina ku ssente ate nga mugumiikiriza. Njagala asobola okubeera mu kyalo, alina empisa, mweru nga yatendekebwa bulungi ewa ssenga. Njagala alina eddiini, Muganda, Musoga, Munyankole oba Mutooro. Omwetegefu kuba 0701909277 oba 0730388256.

Ggwe ani?
Nze Julius Nuwamanya
(mu kifaananyi).

Obeera wa?
Lyantonde Masaka.

Olina emyaka emeka?
Nnina 33.

Ozaalibwa wa?
Nzaalibwa Bushenyi.

Okola mulimu ki?
Ndi musuubuzi.

Oyagala mukazi alina bisaanyizo ki?
Njagala alabika obulungi ng’ali wakati w’emyaka 20 - 27, alina empisa nga mwetegefu okunzaalira n’okwekebeza omusaayi.

Abakwetaaze bakufunye batya?
Ndi ku ssimu 0752859801.

Nakoowa abakazi abaddugavu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...