TOP

Njagala omusajja ow'obuvunaanyizibwa

Added 25th July 2017

Ow’obuvunaanyizibwa, ali wakati w’emyaka 40 ne 50, afaayo alina empisa, akola, amanyi laavu nga mwetegefu okwekebeza omusaayi n’okukola omukwano.

 Kansiime

Kansiime

Amannya ggwe ani? Nze Jackie Kansiime.
 
Obeera wa? Mbeera Namawojjolo-Mukono. 
 
Olina emyaka emeka? Ndi wa myaka 38.
 
Ozaalibwa wa? Wobulenzi- Luweero.
 
Okola mulimu ki? Ntunda Dduuka.
 
Oyagala musajja alina bisaanyizo ki? Ow’obuvunaanyizibwa, ali wakati w’emyaka 40 ne 50, afaayo alina empisa, akola, amanyi laavu nga mwetegefu okwekebeza omusaayi
n’okukola omukwano.
 
Bakufunye batya? Ndi ku ssimu 0752687940
 

Nze Zafran Namwanje 23. Mbeera Mityana. Nnoonya omwami ali siriyaasi nga Musiraamu, amanyi omukwano, ow’emyaka 29-35 nga mwetegefu okwekebeza omusaayi n'okukola obufumbo. Ndi ku ssimu 0754883319.

Nze Rhahumah. Neddira Kasimba. Nnoonya omusajja Omusiraamu, asobola okuntekamu ssente mu mirimu gyange egya saluuni, eyazaalako nga mwetegefu okumwanjula n’okwekebeza omusaayi. Kuba ssimu 0750777030.

Nze Beth 34. Nnoonya omwami akuze mu birowoozo, Omulokole ow’emyaka 40-55. Nze ndi munene era muddugavu. Nnina abaana. Kuba 0793805424.

Nze Rebecca Kisubika 22. Mbeera Lungujja. Nneddira Njaza. Nzaalibwa Luweero. Nakuguka mu byakutunga.Sizaalangako wadde okufumbirwa. Nnoonya musajja atya Katonda nga Mukulisitaayo. Sifuddeyo ku ggwanga. Njagala wa myaka 25 ne 35 nga mwetegefu okwekebeza omusaayi ng’alina omulimu. Kuba ssimu 0759528504.

Nze Gift. Njagala omwami alina ssente, ow’ekyama ng’alina empisa. Nnina emyaka 22. Njagala wa myaka 22- 40. Kuba 0759807115.

Nze Nadia. Nnina emyaka 27. Nnoonya omwami ali siriyaasi ansimye. Kuba 0706739724.

Nze Annet 27. Nnoonya omwami amanyi ennaku ye era nga amanyi ky’ayagala. Mbeera mityana kuba ku 0700894046

Nnoonya omwami. Nnina emyaka 36. Nnoonya omwami ow’emyaka 45-55, ali ku ddagala lya ARVS, alabika obulungi nga nze, alina ssente, omukkakkamu nga si Musiraamu. Saagala mwavu. Kuba 0776109186.

Nze Alice. Nnina emyaka 22. Nnoonya omwami ow’ekyama. Ayagala kuba 0700375141. Nze Lahuma. Nnina emyaka 25. Nnoonya omwami ow’ekyama. Ayagala kuba 0780536259.

Nze Glolia. Nnina emyaka 22. Nnoonya omwami ow’okufumbirwa. Ayagala kuba 0775743647.

Nze Phiona 22. Mbeera Nansana. Nnina omwana. Nnoonya omusajja ow’emyaka 30-36, Omuganda oba Omunyankole, Omulokole, omukozi, ow’obuvunaanyizibwa, kuba nange nkola ate ndi wa mpisa nga mwetegefu okwekebeza omusaayi. Nkubira ku 0703310756.

Nze Lisa 33 ,nnoonya omwami omulokole nga muganda tukole obufumbo obutukuvu emyaka 40-60. Ne bw’aba alina abaana sifaayo nange ndi muzadde. Ndi munene muddugavu. Kuba 0750129423.

Babalando

 

Amannya ggwe ani? Nze Issa Babalando.(mu kifaananyi)

Ennyambalayo ng'ogitaddemu esswaga! Nze bwentyo bwendi.

Obeera wa? Mbeera Kyebando naye nzaalibwa Jinja.

Okola mulimu ki? Ndi muyimbi muto ate ndi polodyuusa.

Obuzibu osinze kubusanga wa? Obutabeera na mukyala annyambako kye kimu ku bisinga okummalako emirembe.

Omukyala alina kubeera atya? Alina ku ssente, omwetegefu okunyambako okutumbula ekitone kyange, ali wakati w’emyaka 20 ne 55, alabika obulungi, amanyi laavu, atazaalangako. Tujja kwekebeza omusaayi.

Bakufunye batya? Ssimu 0759516295.  

ABASAJJA  

NZE Robert 30. Mbeera Bweyogerere. Ndi mulokole. Nnoonya omukyala ng’alabika bulungi kuba nange bwendi, ow’emyaka 25-30, atya katonda nga mwetegefu okwekebeza omusaayi. Kuba ssimu 0704380100.

Nze Abaasi Ssali 28. Mbeera Makindye. Neddira Mutima. Nnina omwana omu. Ndi musuubuzi wa birime. Nnoonya omukazi alina ku ssente, ow’emyaka 30-45 ng’alina empisa ali siriyaasi. Kuba 0752208727

Nnoonya omukazi ali ku ARVs, ali wakati w’emyaka 18-35. Nze nnina 28. Ndi Muteeso era ndi Soroti. Nkanika masimu. Nnina ne wooteeri. Olina okuba omukozi. Kuba 0705408839.

Nze Allan 32. Nnoonya sugammami ow’emyaka 35-45, alina ku ssente kubanga nze sirina naye omukwano gwo nnina mungi. Sifa ku ggwanga.Kuba 0754959626.

Nnoonya omukyala ow’okuwasa asobola okukola bizinensi wadde nga teyasomako. Nsinga kwagala musomesa oba musawo. Njagala atazaalangako. Anjagala akube 0701473861oba 0701641616.

Nze Mukasa. Nnina emyaka 35. Nkola era sipangisa. Njagala omukyala gwenaakuba embaga, atya Katonda, akola, akuze mu birowoozo, atali muyaaye, amanyi ky’ayagala, ali wakati w’emyaka 25-45. Alina ebyo kuba 0757010422.

Nze Lawrence. Nnina emyaka 27. Nnoonya omukyala ayagala obufumbo, atasussa myaka 24. Njagala Munyarwanda oba Muhima. Ndi ku ssimu. 0754454789.

Nze Jackson Osillo 55. Mbeera Mengo. Nkolera mu katale ka St. Balikuddembe. Banzaala Tororo. Ndi mulokole. Nnoonya omukyala omwetegefu okukola obufumbo, ow’emyaka 28-35 ng’atya Katonda. Sifuddeyo ku ggwanga. Njagala omwetegefu okwekebeza omusaayi. Kuba ssimu 0775934368.

Nze MM. Njagala omukyala ow’okuwasa nga wa myaka 25-35. Ndi mwetegefu okumufunira ekyokukola. Mbeera Mubende. Alina okuba ng’ali ku ARVs. Kuba 0758160040.

Nze Haruna Kateregga. Mbeera Ntebe. Nnoonya omuwala nga Musiraamu ng’alina eddiini. Tulina okwekebeza omusaayi. Kuba 0752296579.

Nnoonya omukazi alina ku ssente ng’onoozinteekamu nkulage omukwano. Ndi wa myaka 27. Mbeera Luweero. Njagala asussa emyaka 30. Ali siriyaasi kuba 0790014700.

Nnoonya omukazi ow’ekyama, atasussa myaka 40. Nze nnina emyaka 25. Mbeera KampaIa. AIi siriyaasi kuba 0702335907.

Nze Tom K. Mbeera Mengo. Nnina emyaka 33. Ndi muddugavu era muwanvu. Nnina omwana omu. Njagala omukyala akuze mu birowoozo, atya Katonda, ow’emyaka 25 - 32 tukole obufumbo. Anjagala kuba 0704256046.

Nnoonya omuwala Omulokole, omusawo oba omusomesa wa nnasale nga tasussa myaka 23. Nze nnina emyaka 30. Kuba 0705881019.

Nnoonya omukyala eyeevuga nga mulungi twerage laavu. Saagala ssente, nnina ezange. Ndi wa myaka 29. Njagala wa myaka 23-35. Kuba 0703906592.

Nze Tom. Nnoonya omukyala ow’ekyama. Naye njagala omuntu ateemulisa. Kuba 0752172388.

Nnoonya omukazi anayongera ssente mu bizinensi yange mmulage omukwano ogwaddala. Njagala wa myaka 50-55. Nze nnina emyaka 40. Kuba 0706732458.

Nze Richard Matovu. Mbeera Luweero. Ndi wa myaka 39. Nneddira ngabi. Nnina omwana omu. Njagala omukazi atya Katonda, alina ssente anannyambako okukola, ayagala okuzaala, ali wakati w’emyaka 26 ne 30, alabika obulungi, ng’alina eriiso ne ffiga. Kuba 0778307787.

Nnoonya omuwala ow’emyaka 20-40, omulungi, alina empisa ate ng’alina omulimu gw’akola. Anneetaaga kuba 0794 303088 emisana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo