TOP

Noonya omwami omuyonjo nga ne ssente azigaba

Added 20th November 2018

Njagala mwami ng'alabika bulungi, muyonjo, alina ku ssente, amanyi omukwano, atasussa baana basatu ate nga mwetegefu okwekebeza omusaayi.

Ndagire

Ndagire

Amannya ggwe ani?

Nze Nusra Ndagire.(waggulu)

Obeera wa?

Masajja

Olina emyaka emeka?

Nnina 26

Okola mulimu ki?

Nkyabeera waffe.

Weddira ki?

Ndi mu Mumbejja.

Olina abaana bameka?

Nina abaana babiri

Oyagala mwaami alina bisaanyizo ki?

Njagala mwami ng'alabika bulungi, muyonjo, alina ku ssente, amanyi omukwano, atasussa baana basatu ate nga mwetegefu okwekebeza omusaayi.

Bakufunye batya?

Ssimu 0706504229.

 

ABAKYALA: ABAAMI ABALINA KE MWEKOLODDE MULIWA?

 

NZE Fatuma Namutebi 24. Mbeera Nateete, ntunda mu dduuka, sizaalangako. Nnoonya omwami alina empisa, afaayo, atya Katonda, akola nga mwetegefu okwekebeza omusaayi. Kuba 0758709581.

 

Nze Aisha Namuddu 26. Mbeera Nateete. Neddira Mpologoma, ntunda dduuka sizaalangako. Nnoonya omwami alina omulimu,empisa nga mwetegefu okugenda mu bakadde bange n'okwekebeza omusaayi. Kuba 0708327136.

 

Nze Zulayika Nankya 35. Mbeera Kabowa. Ndi musuubuzi wa matooke era nazaalako. Njagala omwami ow’okukola naye bufumbo ng’alina empisa okuva ku myaka 40 ne 60 nga mwetegefu okwekebeza omusaayi. Kuba 0701857409.

 

Nze Fatias Namukasa 24. Mbeera Kabowa, ntunda dduuka, sizaalangako. Nnoonya omwami alina omulimu, eddiini, empisa ng'alabika bulungi ate nga mwetegefu okwekebeza omusaayi. Kuba 0751258656.

 

Nze Shabibah Namutebi 27. Mbeera Maganjo. Nsiba nviiri.Nnoonya omwami ow’okufumbirwa, atya Katonda alina empisa, akola nga wa myaka 40-50. Kuba 0751536189.

 

Nze Latif Bikumbi 44, mbeera Kamuli Busoga. Ndi musawo omutendeke. Nnoonya omwami alina empisa, omwetegefu okwebeza omusaayi ng’ali wakati w’emyaka 26-40. Kuba 0701107568.

 

Nze Milly, nnina emyaka 46. Nnoonya omwami ow’emyaka 46-60 ng’ali ku ddagala lya ARVs. Njagala asobola okundabirira nange mulabirire nga tukwatagana. Nkubiraako 0776698482.

 

Nze Rhodah. Nnina emyaka 30. Nnoonya omwami ow’emyaka 35-49 ng’ali ku ddagala lya ARVs. Kuba 0757121080.

 

Nnina emyaka 37. Nnoonya omwami ali wakati w’emyaka 45-65. Njagala Musiraamu, alu ku ddagala lya ARVs, alabika bulungi, asobola okundabirira, omuyonjo ng’alina amaka. Nazaalako era nneddira Mmamba. Kuba 0788105701.

 

Nnoonya omusajja ow’okwagalira mu kyama. Ndi Musiraamu, nnina emyaka 32, nasoma era nnina diguli. Njagala alina ku ssente nga nange anaasobola okuzinteekamu.

Tujja kwekebeza omusaayi. Ndi Muganda, nneddira Ngeye era ndi mweru. Njagala atannumye mu laavu twagalane. Mbeera wange. Kuba 0754980819. 

 Ggwe ani?

Nze Robert Mpumwire (waggulu)
 
Obeera wa?
Kibuli
 
Ozaalibwa wa?
Kiruhuura
 
Okola mulumi ki?
Ndi yinginuya mu by'obuzimbi
 
Olina abaana bameka?
Nnina abaana babiri naye sibeera nabo.
 
Oyagala mukyala afaanana atya?
Njagala mukyala atya Katonda okusinga nga Mulokole, alina empisa, alina fi ga
n'akabina, eyasomako n’asussa P7, omuyonjo nga mwetegefu okwekebeza
omusaayi.
 
Bakufunye batya?
Bakube 0773708508 oba 0705132480

 

 ABASAJJA: TWAGALA ABAKAZI ABALUNGI

 

NZE Isma Mutebi 25, mbeera Mengo. Nnoonya omukyala alina ku ssente bwe

tusobola okuyambagana, ali wakati w'emyaka 25 ne 35 ng’okusinga abeera mu Kampala. Kuba 0774275074 oba 0753337323.

 

Nze Micheal Nyanzi 32. Mbeera Matugga, ntunda dduuka, nnina abaana babiri naye sibeera nabo.Noonya mukyala ng'alabika bulungi kuba nange bwendi, ow'emyaka 18-28,alina empisa, eddiini nga tasussa mwana omu ate nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza omusaayi. Kuba 0700527740.

 

Nze Joseph Mukisa. Mbeera Jinja. Nnina emyaka 28. Njagala omukyala wa kuwasa nga myaka 18-25, abeera Jinja, Iganga, Kamuli, Luuka ne Mayuge ng’ali siriyaasi. Ayagala 0786223603.

 

Nnoonya omukazi owookuwasa nga mulungi, alina empisa,ow’emyaka 20-26. Mbeera  Kawempe. Ali siriyaasi kuba 0753355239 twogere.

 

Nze Lawrence. Nnina emyaka 28. Nnoonya omukyala twagalane mu kyama nga tasussa myaka 40. Ndi ku ssimu 0784982948.

 

Nnoonya omuwala omulungi ng’ali wakati w’emyaka 20-30. Kuba 0708389865.

 

Nnoonya omuwala nga si munene nnyo, akola ng’ali wakati w’emyaka 20-30. Kuba 0750801515.

 

Nze Swaibu Muliika 33 Lutaaya. Mbeera Kaliisizo. Ndi dduleeva. Njagala

omukyala ow’emyaka 30- 48 ng’akola. Sifa ku ddiini wadde eggwanga. Ne bw’aba yazaalako tewali buzibu. Kuba 0781439801.

 

Nze RW Semakula 39. Nnoonya omukyala ow’okubeera naye nga muyonjo, mutonotono,

mukozi nga si nabukalu. Omunyarwanda, Omusoga ne lujuuju temukuba. Ali siriyaasi

kuba 0752250550 twogere ebisingawo.

 

Nze MN. Nnina emyaka 52. Njagala omukyala owookuwasa nga wa myaka 53. Ateekwa okuba nga yeewa ekitiibwa, ng’alina eddiini. Ayambala enkunamyo totawaana. Kuba

0703004678.

 

Nnina emyaka 50, nkola mu kitongole. Nnoonya omubeezi nga Musiraamu, mutonotono, muwanvu ng’alina figa 8. Njagala Munyankole, Musoga oba Mutooro nga wa myaka 28-40. Nsooka kubeera naye oluvannyuma ne nkyala ewaabwe. Tujja kwekebeza

omusaayi. Ali siriyaasi kuba ku 0705504849 oba 0782123001.

 

Nnoonya omukazi owookuwasa nga mulungi, atya Katonda, alina ffiga ennungi nga wa myaka 20-35. Nze nnina emyaka 47, mbeera mu Kampala era sipangisa. Saagala bayaaye. Ali siriyaasi akube 0758750079.

 

Nze JB 54. Ndi Mulokole, mubazi wa bitabo era nga nneekozesa. Nnoonya omukyala anaabeera mukwano gwange. Njagala ng’asussa emyaka 40 ng’akola mu gavumenti oba nga yeekozesa.

 

Ateekwa okuba nga naye Mulokole, muntumulamu, alabika bulungi ng’amanyi okuteesa n’okukwata ensonga obulungi. Nandyagadde eyava ku by’okuzaala era nga yakoowa okubeera obw’omu. Kuba 0701220490.

 

Nze Jerom nkolera UK naye nga kati nazze wendi mu Uganda. Nnoonya omukyala

omulungi ng’alina empisa, Ali siriyaasi nkubiraako ku 0781892795.

 

Nze Ronnie. Nnoonya omuwala ng’ali wakati w’emwaka 18-22 tukole obufumbo. Ndi Nateete.

Kuba 0757100429.

 

Nze Denis, mbeera Ntinda. Ndi Muganda, muddugavu, muwanvu, nnina abaana babiri naye sirina mukazi. Njagala omukyala atya Katonda, ow’emyaka 28-38 tukole obufumbo. Kuba 0756117993.

 

Nnoonya omukyala omulungi, owempisa, ow’emyaka 20-25 ng’ayagala obufumbo. Ali

siriyaasi kuba 0703555963.

 

  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...