TOP

Abawagizi ba KCC balina okukkiriza ssentebe omuggya

Added 5th March 2012

AKULIRA ekibuga Kampala (Ssenkulu), Jennifer Musisi yalonze Mike Okua ku bwassentebe bwa KCC FC ng’adda mu bigere bya Dr. Bakka Musujja, eyalekulira. Ono (Bakka) ye yaddawo nga Godfrey Kisekka avuddeko.

AKULIRA ekibuga Kampala (Ssenkulu), Jennifer Musisi yalonze Mike Okua ku bwassentebe bwa KCC FC ng’adda mu bigere bya Dr. Bakka Musujja, eyalekulira. Ono (Bakka) ye yaddawo nga Godfrey Kisekka avuddeko.

Abakungu nga bakulemberwa Paul Ssali, eyaliko ssita waayo mu gy’e 70 ne 80, bawakanya okulondebwa kwa Okua nga bagamba nti Loodi Meeya y’alina obuyinza obulonda okusinziira ku konsitityusoni yaabwe era nti ne Okua yennyini si mwagazi wa mupiira.

Ani alina obuyinza?
Loodi Meeya Eria Lukwago bwe yafunye abamukaabirako naye yeegasse ku Ssali ne banne era yayise olukiiko leero (Mmande) ayogere ku nsonga ya ssentebe n’okukakasa nga ye yekka y’alina obuyinza obugoba n’okulonda ssentebe wa kiraabu.

Enkola y’okumenya konsitityusoni mbi nnyo era esaana kuvumirirwa. Musisi yabadde alina okwebuuza ku Loodi Meeya n’abawagizi ku ssentebe omuggya. Wabula ffenna tumanyi obutakkaanya obuliwo wakati wa Musisi ne Loodi Meeya nga buli omu tamatira munne.

Ssali ne banne bakyamu
Wadde nga Musisi mukyamu, Ssali ne banne nabo bakyamu okwekaninkirira n’okukangaza nti tebaagala Okua kuba tebamumanyi mu luse lwa mupiira. Konsitityusoni enkadde Ssali ne banne gye beesibako, yabagibwa ekifo kya ‘Ssenkulu’ tekiriiwo ng’olwo Meeya y’amala byonna.

Bwe kiba nti kati Ssenkulu y’alina obuyinza mu nzirukanya y’ekitongole okusinga Loodi Meeya, siraba nsonga lwaki Ssali ne banne tebagenda na nkyukakyuka. Ssenkulu gwe basaba ssente era y’alina obuyinza obw’enkomeredde ku buli nnusu egenda ku ttiimu, bw’aba nga ye ayagala kuziyisa mu Okua gwe yeesiga, lwaki Ssali ne banne bakiwakanya?

Enkola y’okugaana omuntu nti kuba tamanyiddwa mu luse lwa mupiira teriimu makulu kuba ono (Okua) aliwo kutuukiriza buvunaanyizibwa bumuweebwa Ssenkulu. Bamuleke akole bw’alemwa olwo balyoke bamuyeekere bw’aba tamanyi by’akola.

Ssali eyali omukwasi wa ggoolo, ye ne John Mutenda ebyekikugu baabisomera wa? Tekijja kubayamba okugaana Okua ne bassaawo ssentebe owaabwe nga Ssenkulu tamuwuliriramu. Ttiimu yeetaaga ssente ate ng’akabinja ka Ssali tekasobola kugiyimirizaawo. Ekisingako kave mu ntalo kanoonye bwe kakyusa ssemateeka atuukane n’enteekateeka empya ey’ekitongole.

kkawuma@newvision.co.ug 0772371990

Abawagizi ba KCC balina okukkiriza ssentebe omuggya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...