TOP

Van Persie yabadde akuumye

Added 6th March 2012

OKULAMULA omupiira si kyangu ng‘abamu bwe balowooza, naddala mu mpaka ez’amaanyi nga Premier! Ddiifiri alina okuba n’obumanyirivu naye ate n’omukisa gwetaagisa.

OKULAMULA omupiira si kyangu ng‘abamu bwe balowooza, naddala mu mpaka ez’amaanyi nga Premier! Ddiifiri alina okuba n’obumanyirivu naye ate n’omukisa gwetaagisa.

Ddiifiri alina okuba mu kifo ekituufu mu budde obutuufu. Mark Halsey, eyalamudde Arsenal ng’ewangula Liverpool 2-1, wadde yabadde kumpi naye mu kifo kikyamu n'alaba ng’omukwasi wa Arsenal,  Szczesny eyakubye Suarez ate naye ne yeesuula!

Okukakasa nti Szczesny teyakoonye ku Suarez, kkamera za ttivvi zaamaze kukidding’ana n’okusikira ddala ekifaananyi kya Suarez nga yeesuula. Singa ddiifiri Halsey yabadde mu kifo ekituufu, yandibonerezza Suarez okwagala okumukozesa ensobi, okufuna peneti, Arsenal yandifunye ‘indirect free kick’ ne Suarez n’afuna kaadi eya  kyenvu.

Ye Henderson okutomera Arteta bamufulumye ng’ataawa, kyabadde mu butanwa. Ku ggoolo ya Van Persie ey'obuwanguzi, Song  we yamukubiridde ppaasi, yabadde (Van Persie) ayimiridde mu layini emu n’abazibizi ba Liverpool naye omutwe gwe nga guyiseemu katono! Van Persie yabadde akuumye naye owaakatambaala  n’atamuwanika, era n’ateeba!  Etteeka limukkiriza.

alitomusange@yahoo.com0772624258

Van Persie yabadde akuumye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pasita Kayiwa mu lumbe.

Paasita Kayiwa ayogedde ens...

Omusamize yandabula nti nali waakufa mu nnaku musanvu, kyokka ekyewuunyisa ate ye yafa ku lunaku olw’omusanvu....

Ekyatutte Paasita Bujjingo ...

Omusumba w’ekkanisa ya House of prayer Ministry International, Aloysius Bugingo yagugumbudde abantu abaavuddeyo...

Omugenzi Yiga yali ne Nabbi Omukazi.

Ebigambo bya pasita Yiga eb...

OMUSUMBA Augustine Yiga Abizzaayo ow’ekkanisa ya Christian Revival Church Kawaala abadde mwogezi akunkumula n’ennyenje...

Katikkiro Mayiga alabudde b...

'Mbakubiriza okuzannya eby’obufuzi eby’ekintu kiramu nga temusiiga bannammwe nziro wabula okutegeeza abantu enteekateeka...

 Ekkanisa ya Paasita Yiga esangibwa e Kawaala.

Ebyewuunyisa mu kiraamo kya...

ENTEEKATEEKA z’okuziika Pasita Augustine Yiga Abizzaayo ziwedde era nga zigenda kugoberera ekiraamo kye yalese....