
Bya Steven Musoke
BWANAMUKULU w’ekigo ky’e Naggalama, Fr. Ignatius Kibowa akunze Abakristu okukola ennyo beekulaakulanye n’okwagazisa abaana eddiini.
Bino Faaza Kimbowa yabyogeredde ku mukolo abayizi, abasomesa n’abazadde b’essomero lya St. Cyprian Kyabakadde kwe baajagulizza olunaku lwabwe wiiki ewedde.
‘‘Kikulu nnyo Abakristu okukola ennyo naye ate kirungi n’okwagazisa abaana eddiini kuba omuntu alimu eddiini aba n’empisa ennungi,’’ Fr. Kibowa bwe yategeezezza.
Ku mukolo guno, abayizi baasanyusizza abazadde mu nnyimba, emizannyo ne katemba ne batonera n’abasomesa baabwe ebirabo okubeebaza olw’okubasomesa obulungi.
Omukulu w’essomero, Kalooli Lwanga yategeezza nti essomero lye lyatandikibwawo ku musingi gwa ddiini nga ku kusoma boongerako empisa, okuyimba n’ebyemizannyo.
Abakristu basabiddwa okukola emirimu egibakulaakulanya