TOP

Nnaabagereka akoledde abaana akabaga

Added 23rd December 2011

NNAABAGEREKA Sylvia Nagginda alaze abaana abatalina mwasirizi omukwano bw’abakoledde akabaga ka Ssekukkulu n’okubaagaliza omwaka omuggya ogw’emirembe.

 

Bya Lilian Nalubega     

NNAABAGEREKA Sylvia Nagginda alaze abaana abatalina mwasirizi omukwano bw’abakoledde akabaga ka Ssekukkulu n’okubaagaliza omwaka omuggya ogw’emirembe.

Nnaabagereka ng’ayita mu kitongole kye ekya Nnaabagereka Development fund, yayambiddwaako mikwano gye aba ARAMEL Shipping Company, Kholly Family okuva mu DUBAI, Shoprite, Minisita Kaddu Kiberu, Chiba Tours and Travel, Samaritan Pass nga bano bali wamu n’aba Noah’s Ark ne  Patricks yakoledde abaana akabaga akaabadde ku Twekobe e Mmengo gye baamaze olunaku  nga bazannya n’okulya.

Nnaabagereka bakira asitula n’okuzannyisa abaana  bagabudde ekijjulo,  n’abateerawo eby’esuubo.  Omuyimbi Bobie Wine ne mukyala we Babie  n’abaana baabwe nabo baacamudde abaana  bwe baabakubidde emiziki.

Abaana baalaze essanyu ery’ensusso bwe baalabye omumbejja Ssangalyambogo ate oluvannyuma ne babagabira ebirabo omwabadde eby’okuzannyisa, ensawo ez’okutwala ebitabo ku masomero, engatto n’ebirala bingi.

Abaana  baggyiddwa mu bitundu bya Buganda eby’enjawulo ne mu maka omukuumirwa abaana  abatalina mwasirizi era kano kaabadde kabonero akalaga abaana nti waliwo ababafaako.

Oluvannyuma Nabagereka ykoleezezza omuti gwa Ssekukkulu mu Lubiri ku kabaga kwe yasiimidde abantu amakampuni n’ebitongole ebimuyambye okuyimirizaawo emirimu gye.

Keetabiddwaako Minisita w’eby’ensimbi Maria Kiwanuka, omumyuka nnamba bbiri owa Katikkiro Mohamed Ssekimpi, ba kwagalana Group, ba Minisita aba Kabaka ko n’abakungu abalala.

 

 

 

 

Nabagereka akoledde abaana akabaga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...