TOP

Bamukubye akatayimbwa e Kyotera ne bamutta

Added 28th December 2011

ABAZIGU bazinze omuvubuka ng’ava okucakala mu kibuga Kyotera ku Boxing Day.

Bya John Bosco Mulyowa

ABAZIGU bazinze omuvubuka ng’ava okucakala mu kibuga Kyotera ku Boxing Day.      

Bino byabaddewo ku ssaawa nga 6.00 ogw’ekiro, abazigu bwe baakubye Benon Safaali 31, akatiayimbwa ku mutwe n’afiirawo, oluvannyuma omulambo gwe ne babusuula mu kidiba.

Safaali abadde akola gwa kutunda mata mu Kyotera era abatemu yabaguddemu mu kisaalu kya Katengo bwe yabadde adda mu maka ga kitaawe Fred Ndemezio ku ku kyaalo Biikira, Gayaza mu Ggombolola y’e Kasaali okumpi n’e Kyotera. Essimu ye baagitutte ne ssente ze baamusanze nazo.  Omugenzi abadde talina mwana kyokka nga yaakawasa omugole Kereni Nyirabisisi.

Omulambo gwe gwalabiddwa abatuuze abaakedde okutambula ku makya g’olwokubiri ne batemya ku poliisi n’ejja n’eguggyawo.

Akulira poliisi y’e Kyotera, David Karugaba yategeezeza Bukedde nti poliisi eri mu kunoonyereza ku ttemu lino.

 

Bamukubye akatayimbwa e Kyotera ne bamutta

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...