TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaserikale abakuuma Kabaka bafunye omuduumizi omupya

Abaserikale abakuuma Kabaka bafunye omuduumizi omupya

Added 18th June 2012

AKULIRA ebyokwerinda kwa Kabaka akyusiddwa n’asikizibwa munnamagye omulala aggyiddwa ku kitebe ky’amagye e Bombo.

Bya Musasi Waffe

AKULIRA ebyokwerinda kwa Kabaka akyusiddwa n’asikizibwa munnamagye omulala aggyiddwa ku kitebe ky’amagye e Bombo.

Capt. Steven Kisitu Mivule kati y’aduumira ekibinja ekikuuma Kabaka nga yazze mu bigere bya WO1 David Kibuuka.
Omuduumizi omupya yatandiseewo enkola ey’okukezaanga abaserikale ba kabaka mu dduyiro buli lunaku gwe batandika ku makya ne bannyuka ku ssaawa musanvu ez’omuttuntu okubakuuma nga bali ‘fiiti’ basobole okukuuma obulungi Kabaka.

Okutendekebwa kuno kukolerwa mu Lubiri e Mmengo era nga kwabuwaze eri buli muserikale akuuma Kabaka.

Abakuumi balondebwa batya

Abantu abatendekebwa okukuuma Kabaka basunsulwa Mmengo ebalondoola okuviira ddala gye bazaalibwa, empisa zaabwe, n’ebintu ebirala bingi era abo abayise mu kakunguuta bakwasibwa eggye lya UPDF

Mu kaweefube w’okunyweza ebyokwerinda kwa Kabaka, wagunjiziddwaawo ekibinja ekirala ekizibizi okuyambako ku basirikale abakuuma Kabaka era ng’ekibinja kino okusinga abantu abakibeeramu basinga kwetegereza bifo Kabaka wabeera naddala ku mikolo n’awakung’aanidde abantu abangi.

Ekibinja kino kikulirwa munnamagye eyawummula James Katende nga yamala ebbanga ddene ng’atendeka abantu mu bya Mchakamchaka mu bitundu ebitali bimu naddala mu Buganda.

Endabirira yaabwe

Olw’okusobozesa ab’ekibinja kino okukola obulungi emirimu gyabwe, Kabaka yalagidde ab’ekitongole kya Buganda Land Board kibaweeyo ensako eya buli mwezi.

Mu balala abali mu kibinja kino ye Mulongo Babirye eyamanyika ennyo mu myaka  gy’e 1990 ng’omu ku bakuumi ba Kabaka omukulu.

Babirye muwala wa Mw. Matia Tebyasa eyaliko Meeya wa Masaka era ng’ekimu ku bimujjukirwako bwali bukambwe bwe yali akozesa ng’akuuma Kabaka kyokka nga obukambwe buno bwali bwa nsonga yakwagala Kabaka we.

Abaserikale abakuuma Kabaka bafunye omuduumizi omupya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.