TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ekutte 15 abagambibwa okukuba obutayimbwa e Kyanja

Poliisi ekutte 15 abagambibwa okukuba obutayimbwa e Kyanja

Added 22nd June 2012

POLIISI ekutte ekibinja ky’a bavubuka 15 abagambibwa okutaayiza abantu kiro ne babakuba obutayimbwa.

Bya Henry Kasomoko

POLIISI ekutte ekibinja ky’a bavubuka 15 abagambibwa okutaayiza abantu kiro ne babakuba obutayimbwa.

Abakwatiddwa kuliko, Musitapha Sembatya, Vincent Mukama, Micheal Obwana, Fred Wandulo, Sande Medard, Hussein Sempa, David Baluku n’abalala.

Kigambibwa nti ku Lwokusatu, poliisi y’e Kira Road ng’eyambibwako bassentebe b’ebyalo omuli, Kulambiro, Ttuba, Kyanja, Kikaaya, Kisaasi, Northern by pass n’ebirala yakoze ekikwekweto mn’eyoola abavubuka 25 abagambibwa okutigomya abatuuze ekiro.

Baabasunsuddemu 10 ne bateebwa oluvannyuma lw’okukakasibwa nti bamanyiddwa bassentebe be byalo ebyo.

Abalala 15 abataabadde na biwandiiko biboogerako baatwaliddwa ku poliisi ne baggulwako emisango omuli, ogw’obubbi,
okukuba obutayimbwa, okunywa enjaga, n’okubba obusawo bw’abakazi mu budde bw’ekiro ogw’obubbi n’emirala ku fayiro nnamba SD:02/20/06/2012. oguli ku poliisi e Kira Road.

“ Tukoze ekikwekweto kino oluvannyuma lw’abantu okujjanga ku poliisi ne batutegeezza nga bwe babakubye obutayimbwa n’okubbibwako ebintu bya bwe mu bitundu bino,” Robert Walugembe atwala poliisi ya Kira Road bwe yategeezezza.

Poliisi ekutte 15 abagambibwa okukuba obutayimbwa e Kyanja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.