TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkooti egaanyi okuddamu okubala obululu bwa Kawempe South

Kkooti egaanyi okuddamu okubala obululu bwa Kawempe South

Added 10th July 2012

KKOOTI ejulirwamu egaanyi akakiiko k’ebyokulonda okuddamu okubala obululu bwa Kawempe South nga ginnaayo Enkulu bwe yali esazeewo.

Bya Prossy Nanziri ne Sarah Zawedde 

KKOOTI ejulirwamu egaanyi akakiiko k’ebyokulonda okuddamu okubala obululu bwa Kawempe South nga ginnaayo Enkulu bwe yali esazeewo.

Omulamuzi Geoffrey Kiryabwire owa kkooti enkulu ye yali alagidde obululu buno buddemu okubalibwa, oluvannyuma lwa Twaha Najja owa NRM ne Wiliiam Kanyike (FDC)  okutwala okwemulugunya ng’agamba nti omubaka Sebuliba Mutumba yayitamu mu bukyamu kubanga ebyava mu kulonda okuva mu bitundu musanvu obutagattibwaako.

Ekiragiro kya Kiryabwire kyaddirira akakiiko k’ebyokulonda okukkiriza nti mu butuufu ebifo bino byalekebwayo.
Kyokka abalamuzi Augustine Nshimye, Stella Arach ne Remmy Kasule baagambye nti munnaabwe Kiryabwwire yali mukyamu okuwa ekiragiro kino nga tawulirizza njuyi zonna.

Abalamuzi bwe batyo baalagidde omusango guwulirwe omulamuzi omulala owa Kkooti Enkulu anaawuliriza enjoyi zonna.
Najja agamba nti musanyufu  omusango guzziddwa wansi kubanga akimanyi nti kkooti ejja kusalawo mazima.
 

Kkooti egaanyi okuddamu okubala obululu bwa Kawempe South

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.