
Bya Donald Kiirya
ABAVUZI ba bodaboda e Jinja beemulugunyizza ku bantu ababaguza Petulooli ku masundiro g’amafuta nti tebabafaako wabula bafa ku mmotoka zokka wadde baba bazisoose mu layini.
Okwemulugunya kuno kuddiridde ebbeeyi y’amafuta okwewanika mu kibuga Jinja ne gava ku 3,680/- buli lita ya Petrol ne gadda ku 4,100/- ate ku masundiro amalala ne galinnya okuva ku 4,500/- ne 5,000/-
Abamu ku ba bodaboda abaasangiddwa ku ssundiro ly’amafuta erya GAPCO esangibwa okumpi n’enkulungo eyitibwa ku Mailo Mbili mu disitulikiti y’e Jinja, bategeezeza nti babaguza amafuta ku masundiro ag’enjawulo balabawo ba mmotoka bokka era bo abagula amatono tebabafiirako ddala.
Beemulugunyiza eri ababaguza amafutta okubabba nga bwe babapimira amafuta agatawera.
Bagambye nti bwo’genda ku Total nga bakumanyi bakuwa amafuta ate gwebatamanyi bamutunulako butunuzi ne bamulowoozaako luvannyuma ekintu ekibayisa obubi era era abagabaguza bagatunda wakati wa 4,000/- ne 5,000/-.
Ebbula ly’amafuta e Jinja likaabya aba bodaboda