Bya MOSES LEMISA
OMUKAZI avudde mu mbeera n’afumita omusajja ekiso ku mutwe gw’alumiriza okwagala okumusobyako.
Regina Nampologoma 25 omutunzi w’emmere ku Kaleerwe ye yafumise Moses Male 35 ekiso ku mutwe mu kiro ekyakeseeza Olwokubiri n’aweebwa ekitanda mu ddwaaliro e Mulago.
Nampologoma yategeezezza nti mu kiro ekyakeeseza ku Lwokubiri ku ssaawa 7:00 ez’ekiro yabadde alina mukwano gwe gw’ava okuwerekera yabadde adda n’asanga Male ng’amuteeze n’atandika okumukwatirira kyokka n’amulwanyisa n’amwesikako ne kitamulira n’amulemerako okutuuka awaka.
“Oyo omusajja yabadde ayagala kunsobyako ng’alowooza nti ndi mwangu, Nampologoma bwe yategeezezza bwe yabadde alinnya kabangali ya poliisi oluvannyuma lw’okumukwata.
Kyokka Male bino byonna yabyegaanyi n’ategeeza nti ku byogeddwa Nampologoma talina kyabimanyiiko kyokka ekyewuunyisizza batuuze n’abapoliisi ye Male eyabadde mu mbeera embi okutoloka ku kitanda e Mulago.
Akulira ebyokwerinda mu Dobbi zooni Steven Buyondo yategeezezza nti Nampologoma ne Male bombi batuuze mu Dobbi zooni. Kyokka nga tebalina kakwate kona na bikwatagana na mukwano naye lwakuba Male ayagala nnyo okutandika entalo ku bantu.
Akulira ebyokwerinda Buyondo yazze nagenda n’abamu ku Bantu ewa Nampologoma era olwatuse ku mulyango ne bakuba ku ssimu ng’eri munju ne bavayo kyokka tebamanyi kyabagudde Male kuddayo nayagala okuyingira munju ya Nampologoma kumpaka .
Mu kiseera kino Nampologoma akuumibwa ku Poliisi y’e Wandegeya ng’okunoonyereza kugenda mu maaso.
Omukazi afumise omusajja ekiso