TOP

Omwoleso gw'embaga gutandise

Added 3rd August 2012

OMWOLESO gw’embaga ogw’omulundi ogwokuna ogumanyiddwa nga ‘Bride and Groom Expo 2012 ‘ gutandise.

Bya EDWARD KALUMBA

OMWOLESO gw’embaga ogw’omulundi ogwokuna ogumanyiddwa nga ‘Bride and Groom Expo 2012 ‘ ogutegekebwa kkampuni ya   Vision Group efulumya ne Bukedde gutandise.

Omwoleso guno gujja komekerezebwa ku Ssande nga  August 5,  2012 mu kizimbe kya  UMA  New Exhibition Hall ekisangibwa mu kibangirizi kya Bannamakolero e Lugogo.
 
Joweria Nabuuma, akulira enteekateeka eno yagambye nti omwoleso gw’omulundi guno bagwongeddemu ebirungo ebinaasobozesa abanaagwetabamu  okugunyumirwa n’okuguganyulwamu.
 
‘Mu mwoleso guno tugenderera oyo ateekateeka embaga okusisinkana abategesi b’embaga abali ku mulembe mu lunaku lumu.      
 
Ku mulundi guno twogengeddemu Abayimbi okuli Sophie Nantongo, Chris Evans, Haruna Mubiru ne Maureen Nantume abagenda okusanyusa abantu .
 
Mu ngeri endala emisomo gya Ssenga eri abo abagenda okufumbirwa n’abo abali mu bufumbo, okwolesa emisono, okusomesa abazadde ku nteekateeka y’amaka, okusomesa abantu okufumba kkeeki, okusomesa abakyala endabirira y’olususu n’ebirala nabyo tebigenda kubulamu’, Nabuuma bwe yategeezezza.
 
Yayogeddeko   nti abantu abenjawulo abaneetaba mu mwoleso guno baakwewangulira ebirabo eby’enjawulo omuli tikiti y’ennyonyi eneebatuusa e Dubai  n’okulambula ebifo eby’enjawulo mu ggwanga.
 
Mu birala ebinaawangulwa mulimu entebe ez’ebbeeyi, kapeti n’ebirala.
 
Kkampuni okuli Pepsi, Sumsung, Fly Emirates, Inspiring Enteriors n’endala be batadde ssente mu mwoleso guno. Okuyingira kwa 5,000/-
 

Omwoleso gw’embaga gutandise

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasumba nga banyokeza akabaani okwetoloola mulambo gwa Ssaabasumba

Fr. Ssajjabbi annyonnyodde ...

OMUSUMBA Severus Jjumba bwe yabadde tannatandika Mmisa ya kusabira mwoyo gwa Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga...

Kalidinaali Wamala

Kalidinaali Emmanuel Wamala...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala akungubagidde Ssaabasumba Dr.Cyprian Kizito Lwanga eyamuddira mu bigere  n'alaga ennyiike...

Omugenzi Ssaabasumba Lwanga

Omugenzi Ssaabasumba Lwanga...

ENTEEKATEEKA z'okuziika Ssaabasumba Dr .Cyprian Kizito Lwanga ziwedde, olukiiko oluzikolako bwe lutegeezezza ng'...

Obutebe nga butegekeddwa ku Lutikko e Lubaga awagenda okuziikibwa Ssaabasumba Lwanga (mu katono) enkya.

Enteekateeka z'okuziika Ssa...

ENTEEKATEEKA z'okuwerekera Dr. Cyprian Kizito Lwanga abadde Ssaabasumba w'essaza ekkulu erya Kampala zigenda mu...

Todwong ng'ayogera eri ababaka abalonde olwaleero.

Ababaka abayonsa bagaaniddw...

ABABAKA abayonsa bagaaniddwa okwetaba mu lusirika lw'akabondo ka NRM aka palamenti enkya  e Kyankwanzi, wabula...