
Bya Ahmed Kateregga
PULEZIDENTI Museveni ne bakakuyege ba NRM mu Buganda bagambye nti oluvannyuma lw’okuwangulwa mu Bukoto South ne Kasese, amaanyi bagenda kugalagira Butambala, owa NRM gy’ateekwa okuwangula okusuubirwa nga September 15.
Museveni yategeezezza bakakuyege abaasobye mu 200 ku Lwokuna nti yabadde agenda kusisinkana abadde omubaka wa Butambala Faizal Ssali Kikulukuunyu ne gwe yaddira mu bigere Lubega Kaddunabbi n’omubaka omukazi Mariam
Nalubega abatabaganye baleme kweyawula nga bwe kyali e Bukoto ekyayamba Mathias Nsubuga owa DP okuwangula Alintuma Nsambu owa NRM.
Yakizzeemu nti ekyasinze okuwanguza NRM e Kaseese butaba na Ssaabawandiisi eyeemalidde ku mulimu ogwo gwokka, ababaka ba Palamenti obutalondoola kulaba bisuubizo bya gavumenti nga bituukirizibwa ate nga n’ensimbi z’okukola kakuyege ezaweereddwa Aboobukiiko 30 ku buli kyalo, abamu ku bawagizi z’abanyiizizza kubanga tebaafunye bwe batyo abawagizi abamu ne batalonda.
N’agamba nti agenda kulonda Ssaabawandiisi okutuusa ttabamiruka lw’alituula omwaka ogujja balonde omujjuzu anaasikira Amama Mbabazi.
Akulira abavubuka mu NRM Buganda Regional Task Force, Sebina Ssekitooleko yaleese erinnya lya Muky. Ruth Nankabirwa, bangi ne balikubira emizira. Abamu bwe beebuuziza ku Nankabirwa ki gwe yabadde ayogerako olw’okuba, mu lukiiko mwabaddemu bannankabirwa abalala, Pulezidenti yennyini n’agamba nti “yabadde ategeeza Ruth Nankabirwa”. Nankabirwa yasituse buli muntu n’amwetegereza kyokka Pulezidenti yavuddewo talangiridde oba gw’anaalonda.
Pulezidenti yasooka kusisinkana bakakuyege bano wiiki ewedde era yabasuubizza okubatwala e Kyankwanzi mu lusirika mu December w’omwaka guno.Baakulembeddwa omumyuka wa ssentebe wa NRM atwala Buganda Haji Abdu Nadduli eyamwanjulidde enteekateeka ey’enjawulo ey’okugoba obwavu mu bawagizi ba NRM. Ssentebe w’e Mubende Maj.
Joseph Kakooza yagambye nti ekisuula NRM, Pulezidenti alina mukwano gwe bwe baazirunda gw’atiitiibya mu gavumenti ne mu kibiina nga ne bw’alya enguzi amuwolereza era nti agenda yeewaana nti yamulaamira obusika kyokka eky’akabi asembeza mukyala we n’abaana baabwe bokka era ng’abantu abalala okubalaba, balina kumala kuyita mu baluganda lwe ne bakoddomibe. Museveni yayanukudde nti taliiko muntu yenna gwe yali alaamidde busika.
Omumyuka wa Pulezidenti, Edward Ssekandi yakwasizza Pulezidenti omudaali ogwamuweebwa, Jean Pierre Nkurunziiza owa Burundi ku mikolo gy’ameefuga aga 50 aga Rwanda ne Burundi, Ssekandi gye yakiikirira Pulezidenti. Bakakuyege baayogedde ebintu bingi omuli obwavu, ensonga z’ettaka n’endala ezikwata ku ggwanga. Omuwanika wa NRM, Muky. Ameria Kyambadde naye yabaddeyo
Museveni n’aba NRM baweze okuwangula e Butambala