TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaagala ekya Besigye bateereddwaako obukwakkulizo

Abaagala ekya Besigye bateereddwaako obukwakkulizo

Added 14th August 2012

ABEESIMBYEWO okuvuganya ku kifo kya pulezidenti w’ekibiina kya FDC bassiddwaako obukwakkulizo

Bya DICKSON KULUMBA  

ABEESIMBYEWO okuvuganya ku kifo kya pulezidenti w’ekibiina kya FDC bassiddwaako obukwakkulizo bwe balina okutuukiriza okusobola okuvuganya mu bwesimbu.

Buli eyeesimbyewo alagaddwa okulekulira ekifo ky’obukulembeze mu kibiina.

Bino omwogezi w’ekibiina kino omubaka Wafula Oguttu yabitegezezza olukungana lwa bannamawulire olwatudde ku kitebe ky’ekibiina kino e Najjanankumbi ku mande.

Oguttu yategezezza ng’abasunsuddwamu abasatu okuvuganya ku kifo kino bwebatandika kampeyini wiiki eno, nga zakumala emyezi essatu miramba okutuusa nga November 20,2012.
 
“ Kampeyini bwezinagwa olukiiko lw’abakiise lujja kutuula nga November 22,2012 okulonda omukulembeze omuggya okudda mu kifo Dr Kiiza Besigye,” Oguttu bweyagambye.
 
“Era amateeka g’ekibiina gagamba nti eyesimbyewo yenna bwaba alina ekifo kyonna kyaddukanya, alina okulekulira obukulu obwo bwatyo nayingira okuvuganya nga tewali nkizo yonna gyalina ku banne,” Oguttu bweyagaseeko.
 
Kino kitegeza nti Nandala Mafabi alina okuva mu  kifo ky’okukulira oludda oluvuganya mu palamenti, Geofrey Ekanya ave ku ky’obuwanika bwekibiina ate Gen Mugisha Muntu, akola ng’omukunzi w’abantu mu kibiina kino, akiveeko.
 
Mu lukungana lwe lumu Oguttu yagambye bo ng’aba FDC bagala pulezidenti Museveni amenyewo byeyayogedde nti ekibiina kyenyigira mu kubba obululu.
 
“Aba NRM bebali bategeka okubba obululu naye netubalemesa, Kayihura yakyuka atwala poliisi y’e Kasese era nakulira ebyokulonda naye nakyusibwa ng’ebula wiiki okulonda kutuuke,” Oguttu bweyewozezaako ng’ekibiina kye bwekitalina busobozi bwakuba kalulu.
 
Era abakungu b’ekibiina kino basabye gavumenti eteeke ensimbi eziwera mu by’emizannyo kubanga byangu byakuzimba omwoyo gw’eggwanga okusimba okuteekawo omusimbi okusomesa abantu mwoyo gwaggwanga.
 
“Omudduusi waffe Kiprotich yatukoze bulungi ng’eggwanga era tumuyozayoza. Wano gavumenti w’erina okukyusiza enkola eggye omusimbi oguli mu maka ga pulezidenti okusomesa mwoyo gwa ggwanga, eziteeke mu mizannyo,”
 
Bamwenda Toterebuka omumyuka w’omwogezi w’ekibiina kino bweyategezezza.
 
Toterebuka yasabye gavumenti efule Kiprotich omuzira w’eggwanga lino olw’ekitiibwa kyeyaritusizaako.
 

 

Abaagala ekya Besigye bateereddwaako obukwakkulizo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...