
Bya Martin Ndijjo
KKAMPUNI ya Vision Group efulumya olupapula lwa Bukedde era etwala Bukedde Ttiivi ne Bukeddde Fa ma egabidde abalabi, abawuliriza n’abasomi b’olupapula lwa Bukedde ebirabo bya Iddi.
Abaawereddwa ebirabo be bawanguzi ababadde beetaba mu mpaka ku mikutu gya kkampuni eno egyenjawulo omuli: Pulogulaamu ya Ddaaku ku Bukedde Ttivvi mwe babadde bababuuliza ebibuuzo ebikwatagana ku ddiini y’Obusiraamu ate ku Bukedde Fa Ma ng’oli awuliriza kayimba ka Kalifah Mukasa n’akuba essimu.
Omukyala, Hawa Babirye Mirembe ow’e Munyonyo Salaama nga musomesa ku Mirembe College ye yasinze banne okuddamu ebibuuzo by’oku Bukedde Ttivvi era yeewangulidde Hijja (okulamaga e Mecca) eyamuweereddwa aba bbanka ya Ecobank ebalirirwamu doola 3,500 ate doola endala 700 okweyambisa zaamuweereddwa aba Vision Group ne Haji Haruna Kibirige okuva mu Hotel Africana.
Ebirabo ebirala ebyabaweereddwa mulimu; eby’okunywa n’okulya okuva mu kkampuni ya Riham ebyaleeteddwa agikulira Kassim Shaddy.
Ttivvi gaggadde n’ekyemisana okuva mu ba Hotel Africana, ekisowani ky’amasannyalaze g’enjuba (solar) okuva mu ba Aziz International.
Abalala abaawangudde bafunye embuzi, amatooke, enkoko, sooda, n’ebyambalo by’Abasiraamu.
Ng’abakwasa ebirabo bino, akulira Vision Group, Robert Kabushenga yasuubiza okwongera okuwagira enteekateeka z’Obusiraamu n’akubiriza abantu okweyongera okusoma, okulaba n’okuwuliriza emikutu gya kkampuni eno nabo bafuuke abawanguzi.
Vision Group ewadde abawagizi ba Bukedde ebya Idd