TOP

Ababbi babayodde

Added 10th September 2012

ABASAJJA babiri abagambibwa okubeera mu kibinja ekirudde nga kiteega mmotoka e Mpigi ku lw’e Masaka ne banyagulula abazitambuliramu nga babatadde ku mudumu gw’emmundu poliisi ebakutte ne bagibuulira obukodyo bwe bakozesa.

Bya BEN SSENTONGO


Kakali (ku kkono) ne Sserunjogi nga balaga ekibundu ekijingirire kye bakozesa okubba.

ABASAJJA babiri abagambibwa okubeera  mu kibinja ekirudde nga kiteega mmotoka e Mpigi ku lw’e Masaka ne banyagulula abazitambuliramu nga babatadde ku mudumu gw’emmundu poliisi ebakutte ne bagibuulira obukodyo bwe bakozesa.

Ababbi bano bulijjo aboogerwako ng’ababbisa emmundu, kyazuuliddwa nga beeyambisa kimundu kijingirire kye batunuza mu bantu ne babanyaga.

Abaakwatiddwa ye Pantalewo Sserunjoji 28 ne Evalisto Kakali 47 abatuuze b’e Ggangu mu Kampala. E Gangu  bavaayo ekiro ne basibira e Mpigi gye bateega mmotoka ne banyagulula abazirimu.

Okukwatibwa kiddiridde poliisi y’e Mpigi okufuna okwemulugunya okuva ku bantu abenjawulo nga bwe banyaguluddwa ne batasigaza kantu ekyawalirizza omuduumizi wa poliisi mu Mpigi, Julius Ahimbisibwe okufuna abaserikale  ne batandika okuliimisa ababbi bano okutuusa lwe baabakutte nga balina mmotoka gye baabadde bakamala okubba.

Nga batuusiddwa ku poliisi balaze engeri gye bayimiriza  mmotoka n’addala ezitisse nga zirinnya olusozi ne bazinyagululira ku kasozi k’e Katende.

DPC Ahimbisibwe yategeezezza nti abasajja bano baakuggulwako emisango egyenjawulo esatu okuli n’ogwokugezaako okubbisa emmundu enjigirire era baakutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe.

Ababbi babayodde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nabunya ne bba Sheikh Muzaata (mu katono).

Muka Muzaata ataddewo obukw...

MUKA Sheikh Nuhu Muzaata ataddewo obukwakkulizo okuddayo mu ddya. Kuluthum Nabunya yanoba kati emyazi esatu. Muzaata...

Abantu nga babuuza ku Amuriat.

Amuriat abuuzizza ku balonz...

PATRICK Oboi  Amuriat (POA) eyeesimbyewo ku bwa pulezidenti owa FDC   ayolekera Kabale naye asoose  ku ssundiro...

Ambassador Mugoya (ku ddyo) minisita Okello oryem, Dr. Ahmed Ssengendo ne  BIruma Sebulime.

Dr. Ahmed Ssengendo alonded...

Olukungaana olw'ekibiina ekitwala amawanga g'Abasiraamu mu nsi yonna (OIC) olw'omulundi ogwa 47 lutudde mu kibuga...

Kasasa ng'ali mu ddwaaliro e Masaka.

Kasasa ebbanja lw'eddwaalir...

Omuyimbi Disan Kasasa adduse ku kitanda ayimbire Mukasa awone ebbanja ly'eddwaaliro. Omuyimbi ono era omuzannyi...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka e Sironko gye yasisinkanidde abakulembeze ba NRM okuva e Sironko ne Bulambuli ku ssomero lya Masaba SSS.

Museveni asuubizza okuyamba...

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okussa mu bajeti y'eggwanga ssente ez'okudduukirira abasuubuzi ne bannannyini bizinensi...