
AB’EKITONGOLE ekirwannyisa obuli bw’enguzi nga bali wamu n’ekya Kaliisoliiso wa Gavumenti, bagenda kutandika okutaganjula fayiro za Munisipaali y’e kibuga Jinja, omwakumpanyizibwa ensimbi ezisukka 600,000,000/-.
Alipoota eno emaze emyaka egisukka mu ebiri ng’enoonyerezebwaako erimu abakozi mu ggwanika ly’ensimbi mu Munisipaali abaayimirizibwa olw’omusango guno.
Byayogeddwa Town Clerk wa Jinja omuggya, David Kyasanku, bwe yabadde ayogerera eri abakiise ku lukiiko lwa Munisipaali y’e Jinja olwakubiriziddwa Sipiika Abubaker Maganda.
Kaliisoliiso ayingidde mu bya Munisipaali y’e JINJA