Bya Eria Luyimbazi
Abapunta nga bapima.
KCCA kiggadde emiryango gya ppaaka ya takisi enkadde ne kigaana takisi zonna okuyingira okumala essaawa bbiri okusobozesa abapunta be kyatutte okupima ettaka.
Okukola kino, KCCA yatutte mmotoka zaayo ne zisimbibwa ku buli mulyango oguyingira n’okufuluma ppaaka okutangira mmotoka ya takisi yonna okuyingira munda okusobozesa abapunta okukola omulimu gwabwe nga tebafunye kutataaganyizibwa.
Kino kyaleetedde baddereeva ba takisi abakolera mu ppaaka eno okulowooza ebintu eby’enjawulo omuli okusala poloti abagagga ze baagula okwetooloola ppaaka eno n’okubagobaganya bafulume ppaaka eno.
Amyuka omwogezi w’ekitongole kya KCCA, Robert Kalumba yagambye nti okutwala abapunta mu ppaaka gwe gumu ku mitendera oguyitiddwamu okusobola okulongoosa ppaaka etuukane n’omutindo.
Yagambye nti okulongoosa paaka kukenda kuyita mu mitendera. Abapunta nga bamaze okupima ettaka bagenda kutwalayo abantu abalala bakole emirimu n’akkaatiriza nti paaka egenda kusigala mu mikono gy’abantu abakoleramu nga tewali agenda kugobebwamu.
Wabula baddereeva baagaanyi okukkaanya n’ekyakoleddwa KCCA nga bagamba nti eri mu lukwe lwa kubagoba mu paaka.
Rashid Ssekindi, omu ku baddereeva abakolera mu ppaaka eno yagambye nti tebafunye kutegeezebwa kwonna okuva mu KCCA nga bwe waliwo omulimu gwonna okugenda okukolebwa.
Ssentebe wa UTC Village, Okello Lukwiya Kolo yagambye nti okusinziira ku mawulire ge yafunye, okuleeta abantu kyagendereddwamu okwawula poloti ezaagulwa ku ttaka lya KCCA n’okumanya eririko enkaayana.
KCCA etutte abapunta ne bapima ettaka mu ppaaka enkadde