Bya MOSES NYANZI
KCC FC ‘eyokya’ Nsimbe
MINISITA w’ebyettaka n’amayumba Daudi Migereko, ayimirizza kkampuni ezigula n’okutunda ettaka e Jjagala-Ggombe okugobaganya abebibanja okutuusa nga Minisitule emaze okutuula nabo n’ebawa eky’okukola.
“Nsaba kkampuni zino zigira ziyimiriza ku mirimu gyazo mu kitundu kino,tumale okutuula nazo, twogere ku ngeri y’okukwatamu n’okuyisa abantu be bagulira ku ttaka. Twagala nabo bakolerwe ebirungi, ebifaanana n’ebyo ebiba bikoleddwa mu kitundu ekyo, so si kubasindiikiriza”.
Migereko yabadde yeetabye mu musomo gw’ebyettaka ogwategekeddwa Omubaka wa Wakiso omukazi mu Palamenti, Rose Nansubuga Ssenninde mwe yasomeserezza abatuuze ow’ekibanja w’ayimiridde ku ttaka ne nnannyini
lyo.
Emisomo gino agenda agitambuza mu Wakiso naddala mu bitundu ebisinga okubaamu ekizibu ky’okusindiikiriza
abantu nga ku luno baabadde Jjagala-Kavule mu ggombolola y’e Ggombe.
Abatuuze beemulugunyizza ku kkampuni okuli Jomayi, Serena, Hozanna, Zion, n’abagagga, nga bwe babasuza nga bakukunadde nga babasindiikiriza n’okubanyigiriza ku bibanja byabwe bye bagulira mu ttaka.
Abatuuze beemulugunyirizza minisita ku byapa eby’ebicupuli ebiva mu kitongole ky’ebyettaka, okutulugunyizibwa okukolebwa abakuumaddembe abawerekera ababasenda, obukiiko obwassibwawo Pulezidenti okukola ku nsonga z’ettaka, okuli aka Bibanja Association, nga kano bakalumiriza okubatulugunya.
Wano we baasabidde Pulezidenti okutondawo akakiiko akanaggyanga abalonzi be mu makomera kuba bangi basibiddwa
olw’ettaka.
Mu kusooka Ssenninde yategeezezza Minisita nti bino byonna bivudde ku Gavumenti obutafaayo kusomesa bantu tteeka
lya ttaka ne batamanya kya kukola, obwavu n’anenya abeebibanja ababirekawo ne bizika n’agamba nti kibagula
ab’ettaka okulitunda nga balowooza nti we batunda weereere.
‘Temugoba b’e Jjagala ku ttaka’