TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba takisi e Lyatonde bagobye abaweebwa ttenda ya paaka

Aba takisi e Lyatonde bagobye abaweebwa ttenda ya paaka

Added 9th November 2012

Aba ttakisi abakolera mu paaka y’e Lyantonde bagobye abantu 15 abaali balondeddwa Town Council okugisolooleza omusolo mu paaka

Bya WALIGO SADATI

 

Aba ttakisi  abakolera mu paaka y’e Lyantonde bagobye  abantu 15 abaali balondeddwa Town Council okugisolooleza omusolo mu paaka oluvannyuma lw’obutakkaanya abwabalukawo wakati wa  baddereeva n’abaali bakutte ttenda y’okusolooza ensimbi.

Mu lukiiko olwabadde olw’ebbugumu nga lwakubiriziddwa  omumyuka wa ssentebe wa Disitulikiti y’e Lyantonde,  Herbert Lwensheshe ng’ali ne RDC, Prekelia Muhindo n’abakiise ku lukiiko lwa Disitulikiti, baddereeva baagobye   Hajji Mohamed Zzinda abadde akola nga ssentebe, Julius Ngologozza, Said Kijjambu, W. Katumba, Zevelio Mulindwa, Augustine Ddumba  n’abalala nga babalanga  okubalemesa  okulonda abakulembeze baabwe n’okweremeza mu buyinza.  

Olukiiko lwabadde mu Shangai Guest House mu kibuga ky’e Lyantonde.
Baddereeva  abaakulembeddwaamu Mustafa Kalule baategeezezza nti abassibwako okusolooza ssente basusse okubatulugunya.

Mw. Lwensheshe eyabadde n’omukiise  Molly Namagembe  baawagidde  baddereeva okwelondera obukulembeze nga  bagamba nti nabo bakooye obuvuyo bw’abasolooza ssente mu paaka kuba babadde  bazikozesa bubi nga n’oluusi tebazikolera nsaasaanya yaazo.

RDC   Muhindo yakkirizza  baddereeva okulonda abakulembeze baabwe   n’abantu abalala bataano okusikira abaagobeddwa ku kusolooza ssente era baasuubizza okukolagana obulungi ne baddereeva.

Aba takisi e Lyatonde bagobye abaweebwa ttenda ya paaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...