TOP

Eyakutte mukazi we n'omusiguze asattizza ekyalo

Added 26th November 2012

OMUSAJJA akubye enduulu esombodde ekyalo oluvannyuma lw’okukwata lubona mukazi we n’omusiguze nga basinda omukwano mu maka ge.

Bya Shamim Nabunnya

OMUSAJJA akubye enduulu esombodde ekyalo oluvannyuma lw’okukwata lubona mukazi we n’omusiguze  nga basinda omukwano mu maka ge.

Bino byabaddewo ku kyalo Nyanama mu Busingiri zoni mu ggombolola y’e Makindye Ssabagabo omusajja omufumbo Moses Lutwama  akola ogw’obukuumi bw’akutte mukazi we Zamina Nabugwire ng’asinda omukwano n’omusiguze Daniel Katuramu.

Lutwama yabadde ali ku mirimu gye egy’obukuumi e Kawaala ne wabaawo omuzirakisa eyamukubidde essimu ng’amuloopera  nga  mukazi we bwe yabadde asuzizza omusajja mu nnyumba kwe kujja ng’asooba n’abagwikiriza.

“Ntuuse ku luggi ku ssaawa 12.00 ez’oku makya ne nkuba essimu omukazi n’egiggyako. Bwe nkonkonye omukazi n’aggulawo omusajja abadde obukunya kwe kufutuka emisinde ampite mu kwawa nange ne mmubaka ne munyweza ng’ali bukunya. Nkomeredde enduulu abatuuze ne bajja okunnyambako ne tumunyweza abantu kwe kukubira poliisi n’ejja,’’  Lutwama bwe yagambye.

Lutwama yatabukidde omusiguze ng’amubuuza oba yabadde akozesezza kondomu kyokka n’akamutema nti ‘’alidde layivu’’. Lutwama yagambye omusiguze agende bamukebere omusaayi ng’agamba nti ayinza okuba ng’amuleetedde obulwadde kuba ye abadde yeekakasa nti mulamu.

Poliisi y’e Kikumbi Zzana yaggalidde omusiguze n’omukazi.Omusajja yamuguddeko gwa kusaalimbira mu maka ga bandi ate omukazi n’emuggulako ogw’okuleeta omusajja mu nju ng’ate mufumbo.

Omusiguze yategeezezza nga Zamina bwe yamugambye nti talina musajja n’akkiriza bagende ewuwe yeesanyusseemu n’agamba nti abadde takimanyi nti mufumbo. Zamina bwe yabuuziddwa ebibaddewo yagaanyi okubaako ky’ayogera.

Poliisi yagambye nti egenda kubongerayo ku poliisi e Katwe oluvannyuma batwalibwe mu kkooti babitebye.

Lutwama yagambye nti omukazi bwe batamukebera musaayi kulaba oba tafunye Siriimu tagenda kumuddira.

Eyakutte mukazi we n’omusiguze asattizza ekyalo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Robert Kyagulanyi Ssentamu

DPP yeddizza omusango gwa K...

KKOOTI eggye enta mu musango gw'okulimba emyaka, munnamateeka Hassan Male Mabiriizi gweyawaabira omubaka wa Kyadondo...

Gav't etaddewo obukwakkuliz...

GAVUMENTI etegeezezza nti abasuubuzi abaagala okuddamu okusuubula ebintu ebiva n'okutwaliribwa mu mawanga g'ebweru...

Minisita w'Ebyensimbi Kasaija ne Byarugaba akulira NSSF nga boogera

Bannayuganda muve mu kwejal...

MINISITA w'ebyensimbi Matia Kasaija alabudde Bannayuganda bave mu kwejalabya batereke ssente ezisobola okubayamba...

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...