TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita Nantaba ataasizza ababadde bagobwa ku ttaka e Buikwe

Minisita Nantaba ataasizza ababadde bagobwa ku ttaka e Buikwe

Added 26th November 2012

Minisita Nantaba azzizzaayo abatuuze be babadde baagoba ku ttaka e Buikwe ku bibanja byabwe.

Bya Henry Nsubuga


Minisita Nantaba azzizzaayo abatuuze be babadde baagoba ku ttaka e Buikwe ku bibanja byabwe.

Abatuuze ku kyalo Buleega mu ggombolola y’e Najja mu disitulikiti y’e Buikwe baasambidde waggulu nga jjanzi oluvannyuma lwa minisita omubeezi ow’eby’ettaka, Idah Nantaba okulagira badde mu bibanja byabwe gye babadde baagobwa omuzungu Triwe Riis Jewsew nnayini kampuni ya Riis Coffee Company Limited nga yeekobaanye ne nnayini ttaka.

Nantaba era yalagidde abatuuze okukuula ebikondo n’okusala sseng’enge omuzungu gw’abadde yasiba ku bibanja byabwe ku yiika ezikunukkiriza mu 100 okuli ebibanja by’abatuuze nga 40.

Ku Lwokuna lwa wiiki ewedde, Nantaba yawalirizibwa okugenda e Buikwe oluvannyuma lw’omubaka wa Buikwe South mu Palamenti Dr. Micheal Lulume Bayiga okumuwadiikira ng’amusaba ayingire mu nsonga y’okugobaganya abatuuze okuva ku bibanja byabwe eyali etandise n’okuvaamu okuyiwa omusaayi.

Lulume yategeeza nti abatuuze baali basula ku ttale n’abamu ng’aky’okulya bawammanta kiwammante olw’okuba ebibanja byabwe okuli ennimiro kwe baali balimira emmere byali bissibiddwako sseng’enge ne bagaanibwa okugendayo nga ne lwe baali bawalazizza empaka ne basala sseng’enge baabakubamu amasasi abamu ku bbo ne bagendera ku bisago.

Nantaba yalambula ettaka erivaako emberebezi oluvannyuma n’akuba olukiiko olwetabibwamu abatuuze, abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo n’Omuzungu.

Yasinziira mu lukiiko luno Nantaba n’asaba omuzungu Riis okulaga ekyapa ku ttaka lye yali ayita erirye ng’agamba nti yaligula ku Edward Galabuzi bwe yalemwa okuleeta ekyapa n’amutegeeza nga bwe yali agoba abantu mu bukyamu n’alagira abantu badde ku ttaka lyabwe.

Yaddayo enkeera ku Lwokutaano n’abaawo ng’abantu bakuula ebikondo ku bibanja byabwe n’okusala sseng’enge abantu.
“Omuzungu yagulirira Poliisi, RDC n’abakulembeze abalala okuviira ddala ku kyalo nga buli gye tubadde twekubira enduulu tubadde tetusobola kufuna buyambi.

Tubadde tusula bweru nga n’emmere tutandise okusaka mu byalo abaali baalima emmere yaffe ne batugoba n’evundira mu muddo,” bwatyo Bosco Nameda omu ku batuuze ababadde baagobwa bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti abaserikale abakuuma  faamu y’Omuzungu abaabakubamu amasasi n’abamu ku bannaabwe ne balumizibwa bbo balya butaala ate ng’abatuuze abaali balwanirira ebibanja byabwe poliisi be yakwata.

Minisita Nantaba yalagidde DPC w’e Buikwe okukwata mangu abaserikale abaakuba mu bantu amasasi bavunaanibwe.

Yategeezezza nti wadde Uganda eyagala era essaamu ekitiibwa bamusiga nsimbi, sinneetegefu kusaatira abo abamenya amateeka omuli n’okubba ettaka ly’abantu.

 

Minisita Nantaba ataasizza ababadde bagobwa ku ttaka e Buikwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...