TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababaka abaakwatiddwa ku bya Nebanda bagenze mu kkooti

Ababaka abaakwatiddwa ku bya Nebanda bagenze mu kkooti

Added 28th December 2012

BANNAMATEEKA b’ababaka abaakwatiddwa ku by’okufa kwa munnaabwe Cerinah Nebanda baddukidde mu kkooti

Bya Ahmed Mukiibi, Muwanga Kakooza, Eria Luyimbazi, Hannington Nkalubo ne Ali Wasswa

BANNAMATEEKA b’ababaka abaakwatiddwa ku by’okufa kwa munnaabwe Cerinah Nebanda baddukidde mu kkooti ewalirize Poliisi okubayimbula awatali kakwakkulizo oluvannyuma lw’okukulungulula essaawa ezisukka mu 48 mu kaduukulu nga tebagguddwaako musango gwonna.

Medard Seggona ne Abdul Katuntu baategeezezza eggulo nga bwe bamaliriza okuteekateeka ebiwandiiko eby’okutwala mu Kkooti Enkulu mu Kampala nga basaba omulamuzi alagire Poliisi okuyimbula ababaka; Muhammad Nsereko (Kampala Central) ne Chris Baryomunsi (Kinkizi East).

Nsereko (gwe baasibidde e Kireka) ne Baryomunsi (ali ku poliisi ya Jinja Road) baakwatiddwa ku Mmande nga December 24, Ssekukkulu ne bagiriira mu kaduukulu wabula n’okutuusa eggulo ku Lwokuna baabadde bakyaggaliddwa wadde nga Konsitityusoni eragira omuntu teeberezebwa okuzza omusango obutakuumirwa mu kaduukulu ka Poliisi kusukka ssaawa 48 nga tannatwalibwa mu kkooti kuggulwako musango.

Nsereko lwebaamusiba gyebuvuddeko.

Poliisi yategeezezza nti ekyayigga ababaka abalala okuli Emmanuel Dombo, Dr. Medard Bitekyerezo, Dr. Sam Lyomoki, Betty Nambooze ne Theodore Ssekikubo bagiyambeko mu kunoonyereza ku nfa y’omubaka Nebanda. Pulezidenti Museveni ku Mmande, yagambye nti ne Sipiika wa palamenti, Rebecca Kadaga ajja kuyambako Poliisi.

Ababaka bakung’aan ya mikono
Mathias Nsubuga (Bukoto South), Mathias Mpuuga (Masaka municipality), Joseph Ssewungu (Kalungu West), Sseggona n’abalala baatandise okusasaanya empapula mu bannaabwe nga baagala okukung’aanya emikono egisoba mu 125 egyetaagisa okuyita palamenti okuva mu ggandaalo eteese ku mbeera eriwo wakati wa gavumenti ne palamenti ku by’okufa kwa Nebanda.

E Mbarara, ababaka; Gerald Karuhanga (Bavubuka) Roland Kaginda (Rukungiri Munisupaali) e Vincent Kyamadidi (Rwampara) baatuuzizza olukung’aana lwa Bannamawulire ku Agip Motel ne basaba gavumenti okuyimbula Baryomunsi ne Nsereko okuva lw’eremeddwa okubatwala mu kkooti ne bavumirira ne Pulezidenti okubayisaamu amaaso n’atuuka n’okubavuma obugwagwa, bo abaalondebwa abantu!

Omubaka Ssemujju Nganda ng’ayogera n’abaamawulire bwe yabadde ava ku poliisi ya Jinja Road awakuumirwa omubaka Chris Baryomunsi.

Ab’ewa kisekka beegugunze
Mu katale ka Kisekka, poliisi yakubye ttiyaggaasi mu basuubuzi ng’ebaziyiza okwekalakaasa olw’okusibwa kw’omubaka waabwe, Mohamad Nsereko.

Peter Lubwama, omu ku bakulembeze b’abasuubuzi b’ewa Kisekka ng’agenda okunnyonnyola ku poliisi.

Poliisi we yatuukidde mu katale nga waliwo ekipiira ekituntumuka omuliro kyokka abasuubuzi ne bategeeza nti abaabadde beekalakaasa si basuubuzi ba mu katale baabadde bakozi ba ffujjo abaavudde awalala beeyambise akatale kaabwe okwegugunga.

Oluvannyuma embeera yazze mu nteeko era abasuubuzi ne baddamu okukola egyabwe.


Ababaka abaakwatiddwa ku bya Nebanda bagenze mu kkooti

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...