
Bya MUWANGA KAKOOZA ne HENRY MUTEBI
ABASOSODOOTI bataano Paapa Benedict XVI be yawadde Obwamunsenyooli baayambaziddwa ebitiibwa byabwe ku mukolo ogwakuliddwa Ssaabasumba w’Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga.
Ku mukolo gwe gumu ogwabadde mu Klezia Lutikko e Lubaga, n’Abakristu bataano Paapa be yawa ekitiibwa ky’obuserikale bwa Paapa nabo baayambaziddwa ebitiibwa byabwe.
Bino byabadde mu kusaba kw’Olusooka omwaka okwakulembeddwa Ssaabasumba w’essaza ly’e Kampala, Cyprian Kizito Lwanga. Era kwetabiddwaamu abaweereza b’Eklezia abawerako okwabadde ne Kalidinaali Emmanuel Wamala.
Abaaweereddwa Obwamusenyooli kuliko; Fr. Joseph Kazibwe Ntuuwa, Lawrence Lugoloobi Ssemusu, Joseph Kyeyune, Joseph Magembe ne Expedito Magembe.
Abaserikale kuliko Joseph William Kiwanuka, FX Lubanga, Kaggo Malokweza, John Pool, eyali omumyuka wa Ssaabalamuzi Leticia Mukasa Kikonyogo, ne Margaret Mary Nakawunde.
Paapa Benedict XVI mu bubaka bwe obwamusomeddwa omuwandiisi w’oku kitebe ky’obwa Paapa mu Uganda, Edward Karaan yakubirizza abantu okulwanirira emirembe okuva mu maka okutuuka mu nsi yonna.
Yavumiridde n’emize ng’okuggyamu embuto, abantu obutassa kitiibwa mu ddiini za bannaabwe, amaka agayuuga, abasuubuzi okuseera bannaabwe n’ebirala byonna bye yagambye nti bikontana n’emirembe. Yasabye abakulembeze okulung’amya abantu baabwe ku ngeri y’okukuumamu emirembe.
Ssaabasumba Cyprian Kizito Lwanga yasabye abasibe abaasibwa nga balangibwa obwemage abali mu makomera mu Uganda bateebwe ng’ekirabo ky’okukuza emyaka 50 bukyanga Uganda yeefuga. Yasabye abantu okutabagana okuviira ddala mu maka n’asaba n’abali mu bifo by’obukulembeze mu ggwanga abaneneng’ana batabagane.
Omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi mu bubaka obwamusomeddwa minisita Maria Lubega Mutagamba yasabye abazadde okukomya okwesuulirayo ogwa nnaggamba nga bakuza abaana kye yagambye nti kijja kubaleetera okukuza bamawale. Era n’asaba bannaddiini okuyamba ku Gavumenti okukunga abantu okweyambisa emirembe egiriwo beekulaakulanye.
Paapa be yalonze bambaziddwa ebitiibwa