TOP

Ab'e Nakawa banaalonda

Added 8th January 2013

ABASUUBUZI b’omu katale k’e Nakawa baasazeewo okuddamu okulonda abakulembeze abaggya kiyambe okumalawo obuvuyo obubaddemu n’obubbi obubadde bususse.

Bya Hannington Nkalubo ne Stephen Mayamba    

ABASUUBUZI b’omu katale k’e Nakawa baasazeewo okuddamu okulonda abakulembeze abaggya kiyambe okumalawo obuvuyo obubaddemu n’obubbi obubadde bususse.

Wabula ekimu ku biwayi by’abasuubuzi kyatutte okwemulugunya kwakyo ewa Loodi Meeya wa Kampala, Erias Lukwago nga kiwakanya engeri KCCA gy’ekuttemu ensonga z’akatale kaabwe, omuli n’okusazaamu ttenda gye baawa kkampuni y’abasuubuzi eya Nakawa Market Vendors Association Ltd mu ngeri gye bagamba nti yali ekontana n’amateeka.

Gye buvuddeko abasubuuzi baagoba abakungu b’ekitongole kya KCCA mu katale kaabwe lwa butabawa bukuumi  so nga babasoloozaamu empooza era ng’ababbi babadde batandise okukozesa omukisa guno okubba ebintu by’abasuubuzi. 

Ku Lwokuna lwa wiiki ewedde abavubuka bataano okuli Francis Mwesigye, Richard Ashaba, Moses Mulera, Robert Asimwe ne Wasswa Kalokota bano nga kati banoonyezebwa poliisi kigambibwa nti baalumbye offiisi za KCCA mu katale ne babbamu ebitabo bya lisiiti, gawuni, obupande bwa KCCA wamu n’essimu y’omu ku bakozi.  

Mu lukiiko olwayitiddwa RCC wa Nakawa,  Hajjat Faridah Kibowa eggulo ne lwetabwamu n’abakungu ba poliisi, Andrew Felix Kaweesa, yeeyamye okwongera ku muwendo gw’abaserikale ba poliisi mu katale era n’abasuubiza nti poliisi y’egenda okukulira ebyokwerinda mu katale ng’eyambibwako akakiiko k’ebyokwerinda abasuubuzi ke bagenda okwerondera bwe banaaba balonda abakulembeze baabwe.

Ate Dayirekita wa KCCA akola ku by’emisolo, Phoebe Kamya yagumizza abasuubuzi ku kulonda n’abagamba nti mu bbanga eritasussa mwezi bagenda kuba bamaze okubabuulira olunaku olw’okulonderako n’abalabula ku bantu abeeyita ab’ekibiiina ky’obwegassi kye baayise Limited, ababasolooozaako ensimbi nti bababba kubanga KCCA yokka y’evunaanyizibwa ku katale kaabwe.

Olukiiko lwetabiddwamu ne meeya wa munisipaali y’e Nakawa Ben Kalumba, omumyuka we Betty Tushabe, Town Clerk wa Nakawa Godfrey Kiseka, ne DPC wa poliisi ya Jinja Rd. Wesley Nganizi.

                           

Ab’e Nakawa banaalonda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.