TOP

SUDAN: Bannayuganda batadde akatale ku nsalo

Added 13th January 2013

BANNAYUGANDA abayingira e Sudan ku mirimu gy’okusuubula buli lukya omuwendo gwabwe gulinnya era mu wiiki eyatandise omwaka nabadde ku nsalo ya Uganda ne Southern Sudan e Elegu era zigenda okuwera essaawa 11:00 nga bukya ennyiriri za Bannayuganda abalinze okuyingira ziba zikutte.

Bya  BENJAMIN SSEBAGGALA  

Kalim Kalamagi eyakulembeddemu banne okuzimba akatale

BANNAYUGANDA abayingira e Sudan ku mirimu gy’okusuubula buli lukya omuwendo gwabwe gulinnya era mu wiiki eyatandise omwaka nabadde ku nsalo ya Uganda ne Southern Sudan e Elegu era zigenda okuwera essaawa 11:00 nga bukya ennyiriri za Bannayuganda abalinze okuyingira ziba zikutte.

Bangi bagendera mu bbaasi ezisimbula mu Kampala ku Arua park wakati wa ssaawa 2:00 ne 4:00 ez’ekiro ne zituuka ku nsalo nga bukya. Bbaasi zikeera kusimba nnyiriri era abasaabaze zibaleka Elegu ne beetambuza abamu balinnya bodaboda okutuuka e Nimule nga bamaze okuyingira Sudan olwo ne baddamu okwolekera gye balaga.

Bbaasi n’emmotoka endala eziyingira e Sudan zisimba ennyiriri ku nsalo abaserikale ne beekebejja empapula olwo ne bazikkiriza okuyingira ate eziva e Sudan okujja e Uganda abaserikale abambadde ebibomboola nga balina n’embwa eziwunyiriza bbomu bazaaza okulaba nga tewali kyabulabe kiyingizibwa mu ggwanga.

Jonathan Kisekka omukungu w’ekitongole ekyekebejja ebiwandiiko by’abayingira n’abafuluma eggwanga yannyonnyodde nti: Bbaasi zitandika okutuuka ku nsalo ku ssaawa 10:00 nga bukya wabula abantu bangi abakozesa ensalo babeera tebamanyi mitendera gye balina kuyitamu kufuna biwandiiko.

Abasudan nga basala ensalo okuyingira e Uganda okwegulira ebintu mu katale ka Bannayuganda.

Abatalina ‘paasipoota’ tubawa ebiwandiiko kwe batambulira nga ‘satifikeeti’ kwe batambulira ya 30,000/- ate ekiwandiiko eky’akaseera akatono nga wiiki ziba 5,000/- ate alina paasipoota tumukooneramu sitampu n’atambula. Abantu abatambula mbalabula beegendereze ababbi kubanga abamu bababbako ensawo zaabwe mu bbaasi n’atuuka ku nsalo nga talina bimwogerako.

Ebyamaguzi bannayuganda bye bayingiza e Sudan kuliko ebintu by’omu maduuka, ebirime, amatooke n’ebirala n’ebisolo okuli ente n’embuzi, enkoko zibeera mu biyonjo ku loole waggulu olwo ne basiba obukutiya mu mitayimbwa gya loole mwe batambuliza obuyana.

Bannayuganda bazimbye akatale:

Enswa bw’ekyusa amaaso nga naawe okyusa envubo, Bannayuganda abasuubulira  e Sudan batandise kaweefube okuzimba akatale ku nsalo batandike okutuusizaawo ebyamaguzi byabwe olwo ababitwala e Sudan babiggye awo babyongereyo. Kalamagi Kalimu eyakulembedde banne abeegattira mu kibiina kya RUSBA be baaguze ettaka yiiya 46 e Elegu mu diditulikiti y’e Amuru bazimbe akatale.

Loole ezeetisse ente, enkoko, embuzi okuzitwala e Sudan

Daniel Kironde alina ekirabo ky’emmere ku nsalo nga mwana nzaalwa y’e Mukono yannyonnyodde nti ye amaze ebbanga ng’asuubula ebintu eby’enjawulo okuli amagi n’ebirala wabula Abasudan babatulugunya nnyo.

Okuzimba akatale ku nsalo kijja kutuyamba nnyo kubanga kijja kwanguwa okuggya ebyamaguzi byaffe e Kampala ne mu bitundu ebirala ne tubituusiza ku nsalo ababyagala ne babiggya awo nga tetusaze nsalo kusasula misolo gy’ewaabwe.

Ffe bwe tusala okugenda e Sudan bayinza okututulugunya singa bakusanga ku nsalo yaabwe nga tolina bikwogerako  naye ate bo basala ne bajja eno ne bagula bye baagala. Obusuubuzi ku nsalo butambula n’emmere gye tutunda etambula naddala mu kiseera kino ng’abantu bava e Uganda okulya ennaku enkulu.

 Akacupa k’amazzi akatono tukatunda 1,500/-, sooda omutono owa pulasitiika    3,000/- essowani y’emmere eva ku 6,000/- ne 8,000/-.

 

SUDAN: Bannayuganda batadde akatale ku nsalo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...