TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Alumirizza omujaasi okukuba abantu amasasi n'abatta

Alumirizza omujaasi okukuba abantu amasasi n'abatta

Added 18th January 2013

OMUKULU mu magye alumirizza omujaasi we okukuba abantu basatu amasasi agaabattirawo e Luzira oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya ne mukyala we.

Bya HERBERT MUSOKE

OMUKULU mu magye alumirizza omujaasi we okukuba abantu basatu amasasi agaabattirawo e Luzira oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya ne mukyala we.

Lt. Sultan Ibbin aduumira Palatuuni y’ebyamawulire mu baalakisi y’e Luzira y’alumirizza Cpl, Herbert Rwakihembo okukuba mukaziwe Irene Namayumba n’abakazi abalala babiri amasasi agaabatta n’okulumya owa bodaboda nga kigambibwa nti mukazi we ono eyali abeera e Luzira mu Kisenyi zooni yali ayenda.

Lt. Sultan agamba nti yawulira amasasi nga gavuga ebweru wa balakisi ate oluvannyuma lw’eddakiika ne wabaawo eyamukubira essimu ng’amutegeeza nga bwe waliwo omujaasi akubye abantu amasasi n’atta basatu.

“Oluvannyuma lw’okufuna amawulire gano nnasooka ku geeti gye nnali nsindise omujaasi ono, okukuuma naye ngataliiwo. Banne be yali akuuma nabo kwe kuntegeeza nti yali abagambye nti agenze mu balakizi kunona kabuuti ye.

Ngenda okutuuka awagudde obuzibu buno nga waliwo emirambo esatu. 

Nagenda okudda ku geeti ne musangawo nga ne kabuuti agirina wabula oluvannyuma yantuukirira n’antegeeza nti yali alina ky’akoze wabula ng’ayagala mmuyambe ng’omuzadde,” Lt. Sultan bw’agamba.

Ono ye mujulizi ow’okutaano era ng’agamba nti wano yamukwatirawo era okugenda okukebera magazini zaabwe ng’eyiye ebulamu amasasi 21, kwe kumukwasa aba Military Police abaatandika okunoonyereza.

Bino bibadde mu kkooti y’amagye etuula ku ssomero lya Luzira C/U ekulirwa George Kakama. Kyokka ng’abantu bwe bakuba emizira n’okumusondera ssente ez’okukozesa mu kkomera era ng’abamu naddala abakazi obwedda balabula abaserikale obutatulugunya musajja waabwe n’okumuliisa obulungi. 

Kkooti eno yaakumala ennaku mwenda ng’ewuliriza obujulizi mu musango guno.

Alumirizza omujaasi okukuba abantu amasasi n’abatta

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo guzzeemu okutojjera

Speaker Kadaga asanyukidde ...

OLUVANNYUMA lwa Pulezidenti Museveni okugya envumbo ku by’emizannyo olw’ekirwadde kya CORONA, okuzimba ekisaawe...

Abasuubuzi nga balaga sipiika bye batunda

Speaker asisinkanye abasuub...

SIPPIKA  wa palamenti  Rebeeca Alitwala Kadaga asabye abakungu b'ekitongole ky'omusolo URA okukomya okunyigiriza...

Nambooze ng'ayogera eri abavubuka ba People Power e Mukono ku NUP.

Nambooze yeekokkodde abamwe...

Nambooze yeegobyeko abamwekukuutirizaako mu kalulu olumala ne bajeema.

Engeri gy'ofuna mu nkoko z'...

ENKOKO z’amagi zirimu ssente mu kiseera kino, naddala ng’ozirabiridde obulungi ne zitandikira mu budde obutuufu...

Hajji Musa ng'annyonnyola

Enkoko z'ennyama 100, zikuk...

NGA buli omu asala entotto ku ngeri gy'asobola okuyingiza akasente mu nsawo okuyita mu mbeera y'ekirwadde kya Corona,...