TOP

Abajaasi ba UPDF 1,700 babatutte Somalia

Added 18th January 2013

EKIBINJA nnamba 11, eky’abajaasi Bannayuganda 1,700 batwaliddwa mu lutalo e Somalia okuddira mu bannaabwe 1,700 ab’ekibinja nnamba 9, ababaddeyo okumala omwaka mulamba.

Bya JOSEPH MUTEBI

EKIBINJA nnamba 11, eky’abajaasi Bannayuganda 1,700 batwaliddwa mu lutalo e Somalia okuddira mu bannaabwe 1,700 ab’ekibinja nnamba 9, ababaddeyo okumala omwaka mulamba.

Abajaasi bano baasimbudde ku Lwakusatu okugenda e Somalia era baakulembeddwamuCol. Joseph Balikuddembe ate ng’abaavuddeyo babadde baduumirwa, Lt. Col. Akiki Rugadya era nga bano baakola nnyo okuwamba ekitundu ky’e Masilah ne KM 50.

Col. Balikuddembe ayinza okuba nga tagenda kusanga kaseera kangu mu kitundu ky’e Jowhar gy’asuubirwa okutwalibwa kubanga eno y’esigadde abakambwe ba Al Shabaab abagumbye mu kisaawe ky’ennyonnyi kyokka kye babadde basigaddemu mu Somalia.

Balikuddembe yalabuddwa aduumira amagye ga Uganda ag’oku ttaka, Lt. Gen. Katumba Wamala eyabaanirizza e Mugadishu nga bw’alina okukola ennyo okuddira ddala mu bigere bya munne Rugadya bwe yakola okuwamba KM 50.

Ate Katumba alabudde Bannayuganda obutesuuliraayo gwa nnagamba ku bakambwe ba Al Shabaab abataano abagambibwa okuyingira mu Uganda nti kisoboka kubanga engeri amagye g’amawanga amagatte omuli ne Uganda gye gaabanyigiriza mu ddwaaniro e Somalia, bayinza okwagala okwesasuza.

“Al Shabaab ekyali ya maanyi n’e Somalia mu bitundu ebimu era eringa omusota omukubeko bw’oba tonnagukuba ku mutwe n’ogutta bwe gukulabiriza gukuluma,” Lt. Gen. Katumba Wamala bwe yategeezezza omusasi wa Bukedde Joseph Mutebi ali mu ddwaaniro e Somalia.

Yategeezezza nti engeri ensalo zaffe nga Uganda ne Kenya bwe tulina ennyo enkolagana n’abantu bonna okuva mu mawanga ag’enjawulo mu by’obusuubuzi nga tetukalubiriza muntu ayingira ggwanga lyaffe bangi bakozesa ekkubo lino naddala Abasomali ne bayingira mu Uganda era Bannayuganda balina okwegendereza omuntu yenna gwe batategeera bulungi babuulire poliisi n’obutamala gasanga bibokisi ne babikwatako.

Abajaasi ba UPDF 1,700 babatutte Somalia

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....