TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mmotoka gyebabba e Kampala babakutte bagitunda Mbarara

Mmotoka gyebabba e Kampala babakutte bagitunda Mbarara

Added 7th February 2013

ABASAJJA babiri abagambibwa okwekobaana ne babba emmotoka ya munnaabwe poliisi ebakutte bagitunda Mbarara.

Bya STEPHEN MAYAMBA


ABASAJJA babiri abagambibwa okwekobaana ne babba emmotoka ya munnaabwe poliisi ebakutte bagitunda Mbarara.

Asuman Kalule 27, eyeeyita Asaph Kabenge ne Ben Jaggwe 21, omwozi w’emmotoka nga batuuze b’e Kawempe Kisowera kigambibwa emmotoka babba ya Moses Sebunya, Ipsum nnamba UAP 074P ow’e Najeera.

Kigambibwa baagibba mu August omwaka oguwedde bwe yali yaakagisimba ebweru w’ennyumba ne bagitwala ne bagitereka e Masaka nga bwe banoonya omuguzi.

Kalule mukwano gwa Sebunya era nga yateranga n’okumuwaamu n’avuga agamba yakozesa omukisa nga bamuwaddemu n’akuba ekisumuluzo ku ssabbuuni n’agenda akozesa ekikye kye beeyambisa okwakisa mmotoka nga bagibba so nga kaadi yagimubbako n’agenda ku Nasser n’ayokesaamu kkopi kwe yabadde agitundira.

Okukwatibwa, kyad,iridde omuguzi gwe baabadde bafunye e Mbarara nga baagala awanyiseemu abawe kabangali 1200 abongerezeko n’obukadde bubiri n’emitwalo 60 okubeekengera n’atemya ku poliisi eyasitukiddemu n’esanga ng’emmotoka etundibwa bulijjo baginoonya.

Baakwatiddwa ne bazzibwa mu Kampala omusango gye gwazzibwa n’okuloopebwa ku fayiro
SD:18/22/08/2012 e Kira.

Akulira poliisi mu divizoni y’e Kira, SP Peter Nkulega yagambye nti Sebunya agenda kukwasibwa mmotoka ye kubanga yabaleetedde ebiwandiiko byayo ebituufu ate Kalule ne Jaggwe baggulweko emisango ebiri ogw’okubba mmotoka n’okujinga ebiwandiiko.
 

Mmotoka gyebabba e Kampala babakutte bagitunda Mbarara

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....