
Bya Ahmed Mukiibi
AB’EKITONGOLE ky’Ebyempuliziganya mu ggwanga n’abaddukanya amakampuni g’amasimu mu Uganda batuula leero ku Lwokutaano okusalawo ekisembayo ku bantu
abasukka mu bukadde busatu abatannawandiisa ssimu zaabwe.
Nsalesale ow’okusalako essimu zonna ezitali mpandiise wa wiiki ejja ku Lwokuna nga February 28, 2013 wabula abantu abasukka mu bukadde busatu bagambibwa okuba
ng’essimu zaabwe si mpandiise olw’ensonga ez’enjawulo.
Abantu abasukka mu bukadde 16 be balina amasimu mu Uganda wabula ab’ekitongole kya
Uganda Communications Commission (UCC) bagamba nti essimu ezaakawandiisibwa okuva nga March 1, 2012 okutuuka kati ziri obukadde nga 13.
Omukungu wa UCC, Fred Otunnu yategeezezza nti olwaleero bagenda kutuula n’abaddukanya amakampuni okuli Airtel, Warid, Orange, MTN, utl, K2 n’amalala
okumanya omuwendo gw’amasimu agaakawandiisibwa n’okusalawo ekisembayo.
“ Kampeyini ey’amaanyi egenda mu maaso ku kuwandiisa amasimu eyambye kinene abantu okujjumbira okuwandiisa amasimu.
Tusuubira nti amasimu ebitundu wakati wa 75 ne 80 ku buli 100 ze zimaze okuwandiisibwa.
Gavumenti ng’eyita mu tteeka ly’okulumika amasimu eriyitibwa “Interception of Communication Act” yawa ekiragiro okuwandiisa nnamba z’amasimu mu bbanga lya
mwaka gumu okuva March 1, 2012 okutuuka nga February 28, 2013.
Ab’ekitongole kya UCC bazze balaalika nti tewajja kubaawo kwongezaayo bbanga
ery’okuwandiisizaamu amasimu okusukka February 28; ye wiiki emu yokka okuva kati nti essimu yonna enaasangibwa nga si mpandiise yakuggyibwa ku mpewo.
Wabula Mw. Otunnu yagambye nti waliwo okwemulugunya kwe bafunye okuva mu bantu abawerako abagamba nti baawandiisa amasimu gaabwe nga n’ebiwandiiko babirina
kyokka nga bwe bakebera ku mikutu gy’empuliziganya kwe bali, ebyuma biraga nti si bawandiise.
Mu kafubo kaabwe olwaleero, Otunnu yagambye bagenda kutunula mu kwemulugunya
okw’enjawulo basalewo ekisembayo.
Engeri gy’omanya oba essimu mpandiise
1. Airtel – *205# oba *197#
2. MTN - *140*3*2*1#
oba *197#
3. Orange Uganda - *197#
4. Uganda Telecom – *123#
5. Warid Telecom - *100*7#
Nsalesale ku ssimu ez’ebicupuli
Wabula nsalesale ku masimu agatatuukana na mutindo abadde akoma mu June 2013 ayongezeddwayo okutuuka October 31, 2013 omwaka guno okuwa omukisa abantu abalina
essimu ez’ebicupuli okugula endala ez’omutindo.
Ekitongole kya UCC kiteebereza nti essimu ebitundu 30 ku buli 100 eziri mu bantu za bicupuli, ekitegeeza nti essimu ezisukka mu bukadde butaano zigenda kuggyibwa ku mpewo singa bannannyinizo tebazikyusa.
Kino kiddiridde abasuubuzi b’amasimu okutuukirira aba UCC be baawa ensonga zaabwe nga
bagamba nti beetaaga obudde okuteeseganya n’amakampuni agakola amasimu, kubakyusizaamu essimu enfu baweebwe empya ez’omutindo baleme kufiirwa.
Aba UCC bawadde bakasitoma amagezi okusooka okukebera essimu empya ze bagula nga beeyambisa emitendera egyassiddwawo ekitongole kino baleme kusibwa bicupuli.
Abantu obukadde 3 tebannawandiisa ssimu zaabwe