TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 'Tukooye Besigye ne poliisi okucankalanya Gayaza'-Batuuze

'Tukooye Besigye ne poliisi okucankalanya Gayaza'-Batuuze

Added 7th March 2013

BADDEREEVA ba takisi e Gayaza basabye Poliisi ekomye obuzannyo bw’ezannya ne Besigye kuba bugootaanya emirimu gyabwe n’okutwaliramu bassaalumanya

Bya Moses Nyanzi

BADDEREEVA ba takisi e Gayaza basabye Poliisi ekomye obuzannyo bw’ezannya ne Besigye kuba bugootaanya emirimu gyabwe n’okutwaliramu bassaalumanya ne basaba babuzannyire
mu maka ge agasangibwa e Kasangati mu Buyinja Zooni, okusinga okubuzannyira mu luguudo.

Kino kyaddiridde Poliisi okuleka Besigye ku Lwokubiri ku makya n’atambuza ebigere okuva mu maka ge n’ayolekera ekkubo okutuuka ku luguudo olunene n’atuuka n’okulinnya takisi nga Poliisi ejja emuwondera buwondezi mu kifo ky’okumutangira nga tannasimbula waka.

Poliisi yamulinze n’alinnya takisi, oluvannyuma poliisi n’egikiika kabangali zaayo gattako okukwata ddereeva, Nasser Nsereko ne kondakita we nga bw’ebasambasamba n’okukasukibwa ku kabangali n’oluvannyuma Besigye n’aggyibwa mu takisi n’atwalibwa ku Poliisi y’e Kira.

Bino baabituuseeko mu lukiiko lw’eby’okwerinda olwayitiddwa RDC Kasangati, Betty Ssemakula nga lwetabiddwamu DPC ow’e Kasangati Seiko Chemonges, abakulembeze b’eggombolola n’abagoba ba takisi ne bodaboda n’abatuuze ab’enjawulo nga lwakubiddwa mu paaka e Gayaza.

Baddereeva okutuuka okuta Akaka kyaddiridde Chemonges okulabula nga bwatagenda kuddamu kukkiriza bikolwa bya kwekalakaasa mu kitundu kyatwala nti ate agenda kufaafaagana ne Gayaza gye bayita Bengazi okutuusa ng’eteredde.

Wano Dennis Kisembo weyabakidde akazindaalo n’anenya DPC,nti okutuuka okukwata munnaabwe eyabadde yenoonyeza amata g’abaana n’amuza mu firimu zaabwe ekyabasanyusiza nga baddereeva wabula ateebwe nemmotokaye ezzibweko ennamba ezatemeddwaako.

DPC yategeezeezza nga Nsereko bwe yajeemedde amateeka ga Poliisi okuyimiriza mmotoka Besigye ng’amaze okugiyingira nti y’ensonga lwaki yakwatiddwa n’okutema nnamba ku mmotoka ye.

RDC yeeyamye okukolaganira awamu n’abagoba ba takisi okulwanyisa ebikolwa ebikyamu n’okukuuma emirembe nga bayingiza takisi zonna ne bbaasi mu paaka olw’okutangira obubenje.

 

‘Tukooye Besigye ne poliisi okucankalanya Gayaza’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Nuhu Muzaata.

Kitalo: Sheikh Nuhu Muzaata...

Sheikh Nuhu Muzaata afudde ku Lwokutaano nga November 4, 2020. "Innalilahi wainailayhi Rajoun? Sheikh Nuhu...

Sheikh Muzaata

Kitalo Sheikh Muzaata afudde

 KITALO SHEIKH MUZAATA AFUDDE Kitalo! Sheikh Nuhu Muzaata Bbate afudde!. Ono abadde mu ddwaaliro ya International...

Harriet Nakwedde eyagenze okulambula ku Bukirwa mu ddwaaliro.

Maama eyakubwa ttiyaggaasi ...

MAAMA w'abaana Justine Bukirwa 45, eyakubwa akakebe ka ttiyaggaasi mu mbugo ne kamwabikiramu, avundira mu kalwaliro...

Basajja ba Bobi be baakubyemu ttiyaggaasi nga babuna emiwabo.

Nobert Aliho musajja wa Bob...

Abawagizi ba Bobi Wine ababadde batambulira ku kabangali bakiguddeko poliisi bwebakubyemu obukebe bwa ttiyaggaasi...

Salvado ne Daphine nga bakung'aanya ebirabo.

Kazannyirizi Salvado ne Dap...

Kazannyirizi Salvado akiggadde mu sitayiro. Akubye kabiite we Daphine embaga ne yewaana. '' sikyali mu kiraasi...