
Bya Mukasa Kivumbi
LOOLE lukululana ebaddde yeetisse amafuta egudde n'ekwata omuliro okutuusa lwesaanyewo ng’abadduukirize tebalina kyakugikolera.
Yasoose kutomera wa bodaboda gwe yagwiridde n’emukutulamu ebitundu bibiri omutwe ne gugoya.
Akabenje kano kagudde ku kyalo Kitega okumpi n'ekibuga Lugazi ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja.
Abantu baakubye enduulu nga balaba omuliro gutuntumuka guuuse ku nju eziriraanyeewo kyokka bannannyinizo ne banguwa okusombamu ebintu.
Abadduukirize babadde bakyataasa ebintu byabatuuze abaliranyewo kwekugwa ku mulambo gw'omuntu ogubadde gutaliiko mutwe ku mabbali g’ekkubo era nga waliwo bodaboda ey'ekika kya Bajaj No. UDW 236K.
Oluvannyuma abantu bakebedde mu nsawo z’omugenzi ne basangamu ebiwandiiko ebiraze nti ye Muhamud Sekkebe nga muvuzi wa bodaboda ku RRU stage e Kireka. Ekiwuduwudu n’ebitundu ebirala bassiddwa mu kkutiya ne bitwalibwa mu ddwaaliro e Kawolo.
Lukululana eyabadde eva Kenya ng’dda Kampala kigambibwa nti lukululana yaseeredde ku koolaasi olw’enkuba ebadde ekedde okufuuyirira.
Lukululana egudde e Lugazi nekwata omuliro; omu mufu