TOP

Abatema mmotoka babataddeko amateeka 8

Added 17th March 2013

POLIISI etadde amateeka amakakali ku batema mmotoka enkadde oluvannyuma lw'abantu okwemulugunya nti mu bo mwandibaamu abatema mmotoka enzibe.

Bya MOSES LEMISA

POLIISI etadde amateeka amakakali ku batema mmotoka enkadde oluvannyuma lw'abantu okwemulugunya nti mu bo mwandibaamu abatema mmotoka enzibe.

Mu lukiiko Poliisi lwe yatuuzizza e Bwaise ku Lwokuna, akulira Poliisi y'oku Kaleerwe, Charles Nsaba yategeezezza nti okusinziira ku mawulire agatwaliddwa ku Poliisi galaga nti abatema mmotoka balina kye bamanyi ku mmotoka ezibbibwa.

Nsaba yayongeddeko nti kati Poliisi etaddewo amateeka ku batema mmotoka ge balina okugoberera era antaagagoberere waakusibwa. Nsaba yagambye nti abamu ku batema sipeeya bamanyi  okwekobaana n'ababbi ne babagulako mmotoka ne bazitema.

AMATEEKA GE BABAWADDE
1Buli musuubuzi wa mmotoka alina okwewandiisa.

2 Omusuubuzi omupya e Bwaise alina okuleeta ebimwogerako gy’ava.

3 Amaduuka gonna agatunda sipeeya w'emmotoka enkadde e Bwaise galina kutandika ssaawa 2.00 ez'oku makya ne gaggalawo ku ssaawa 2.00 ez'ekiro.

4 Abatunda sikulaapu baaganiddwa okuddamu okutikka ebyuma ekiro.

5 Abakuumi abakuuma ekifo awali mmotoka ezitemebwa balina okwanjulwa ku Poliisi.

6 Buli musuubuzi talina kugula mmotoka nga tategeezezza ku bakulembeze baabwe.

7 Kaadi n’ennamba za mmotoka eziba zitemeddwa abasuubuzi balina okuzitwala mu ofiisi ya RDC e Kawempe zongere okunoonyerezebwako.

8 Teri kuddamu kugula mmotoka ya ndagaano yokka, erina okubako ne kaadi.

Amateeka ago gonna poliisi yagambye nti gaatandikiddewo okukola ng’olukiiko luwedde.

Yayaha Kakooza omubaka wa Pulezidenti yategeezezza nti abatema mmotoka babadde bakwataganira wamu ne ofiisi kyokka mulimu abeefudde bakiwagi be yalabudde nti agenda kubakwata kuba bandiba nga bamanyi ku mmotoka enkadde ezibbibwa.

Isma Makumbi ssentebe w’abatema mmotoka ewa Mambule yategeezezza nti abatema mmotoka mu kifo kino basoba mu 100 n’asuubiza poliisi nti bagenda kukwatagana nayo okulaba nga bamalawo abeenyigira mu bubbi bw'emmotoka.

 



Abatema mmotoka babataddeko amateeka 8

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....