TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abayizzi abasse engabi n'emisu gabamyukidde ku kkooti y'omulamuzi-Abasibye

Abayizzi abasse engabi n'emisu gabamyukidde ku kkooti y'omulamuzi-Abasibye

Added 22nd March 2013

ABAYIZZI abasse engabi n’emisu ebiri gabamyukidde mu kkooti bwe bategeezeddwa nti kye baakoze kimenya mateeka, era ne basindikibwa mu kkomera.

Bya Nelson Kiva

ABAYIZZI abasse engabi n’emisu ebiri gabamyukidde mu kkooti bwe bategeezeddwa nti kye baakoze kimenya mateeka, era ne basindikibwa mu kkomera.

Abayizzi bano 84 baavudde Ggomba ne bagenda e Kyankwanzi okuyigga era abasinga beewozezzaako nga bagamba nti bulijjo tebamanyi nti okuyigga musango, era babadde
bakikola ng’eky’ebyobuwangwa.

Kyababuuseeko bwe baabakwatidde ku kyalo Gala mu muluka gw’e Rwengajju mu disitulikiti y’e Kyankwanzi ku Lwokusatu.

Baabasanze n’embwa zaabwe 29, amafumu 77, entuula 66, amajambiya 44, n’obwambe obubaaga 6, kw’ossa engabi gye baabadde baakamala okubaaga wamu n’emisu ebiri.

Baabasanze ne loole Fuso nnamba UAS 818W mwe baatambulidde okuva e Ggomba okugenda e Kyankwanzi bayigge.

Baasoose kubiyita bya lubalaato, ng’abamu bagamba nti emizimu gya bajjajjaabwe
gy’egibalagira okuyigga wabula baagenze okulaba nga babatwala ku poliisi e Kiboga era ne basindikibwa mu kkooti.

Abayizzi bonna bakkirizza mu maaso g’Omulamuzi ow’eddaala erisooka Mastullah Mulondo nti baabadde mu kuyigga wabula ne bategeeza nti tebakimanyangako nti guno musango.
Omulamuzi yabasalidde ekibonerezo kya kusasula engassi ya mitwalo etaano (50,000/-)
oba okusibwa emyezi 4 wabula abasinga nga ssente tebazirina; kwe kutwalibwa mu kkomera
nga bwe balindirira ab’eng’anda zaabwe okubaleetera ssente bayimbulwe.

Omulamuzi yagambye nti ekibonerezo kyandibadde kinene okusingawo wabula baalaze obweyamu okwenenya n’obutaddamu kuyigga nsolo za mu nsiko ate nga tebaayonoonedde kkooti biseera.

Kumpi bonna baategeezezza omulamuzi nti eka baaleseeyo famire ze balina okulabirira.
Ekikwekweto mwe baabakwatidde kyakulembeddwa akulira ebikwekweto mu kitongole
ekivunaanyizibwa ku bisolo eby’omu nsiko Peter Ogwang ng’akolaganira wamu n’amagye
ne poliisi.

Eggulo ab’enganda baatutte ssente ne bayimbulwa.

Mu June 2011 abayizzi 10 baakwatibwa e Kyankwanzi Omulamuzi Suzan Kanyange
n’abawa ekibonerezo kya kusibwa emyezi munaana.

Abayizzi abasse engabi n’emisu gabamyukidde ku kkooti y’omulamuzi-Abasibye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bakaluba Mukasa.

NUP ewangudde disitulikiti ...

EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) kyeyongedde okweriisa enkuuli mu kulonda kwa bassentebe ba disitulikiti...

Magogo (ku ddyo) ne Mbidde ku mukolo ogumu.

Magogo okusigala mu ntebe y...

PULEZIDENTI wa FUFA, Moses Magogo oluvannyuma lw'okuwangula akalulu k'omubaka wa Palamenti (Budiope East), asaanye...

Abazannyi ba Rugby Cranes, nga beeriga ne ttiimu ya Zimbabwe e Lugogo.

Aba rugby beesika emiwula l...

Bya SILVANO KIBUUKA Rugby Cranes etandise kaweeefube w'okulaba nga Uganda evuganya mu mizannyo gya Olympics omulundi...

Omuddo gwa Kafumbe nga bwe gufaanana.

Omuddo gwa kafumbe gugoba o...

ABAANA bwe bagenda bakula ne baweza emyaka nga 13 bafuna olusu abangi lwe bamanyi nga kaabuvubuka. Omwana ne bw'aba...

Omusumba Kisitu.

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w'Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky'e Gulu...