TOP

Abaagobwa ku bibanja babibaddizza

Added 25th March 2013

ABATUUZE ku byalo bisatu okuli Mayombwe, Butaaka ne Katereke mu ggombolola y’e Kibibi mu disitulikiti y’e Butambala bali mu kujaganya oluvannyuma lwa ofiisi y’obwapulezidenti ekola ku nsonga z’ettaka okubaddiza ebibanja byabwe ebyali byabaggyibwako Omuyindi.



Bya ANDREW MUGONZA ne MUZAFALU KATAMBA 

ABATUUZE  ku byalo bisatu okuli Mayombwe, Butaaka ne Katereke mu ggombolola y’e Kibibi mu disitulikiti y’e Butambala bali mu kujaganya oluvannyuma lwa ofiisi y’obwapulezidenti ekola ku nsonga z’ettaka okubaddiza ebibanja byabwe ebyali byabaggyibwako Omuyindi.

Okusinziira ku batuuze, baategeezezza nti ettaka kwe bali liriko enkaayana wakati w’abaana b’omugenzi Hooda Bbira n’Omuyindi Badru Din. Kigambibwa nti ettaka lyaliko faamu y’ente, ennimiro z’ebibala nga ‘Estate’ eno yali ya Muzungu, Henry Hanta ng’eyitibwa ‘Simba Estate’ mu myaka gya 1930. 

Kigambibwa nti Hanta ettaka yali yafunako liizi eyamuweebwa Hooda Bbira eyali nnannyinilyo kyokka n’afa nga waakayita ebbanga ttono. 

 Kigambibwa nti Hanta bwe yali adda e Bungereza, esiteeti eno eyaliko yiika 440 yagirekera Omuyindi naye n’agitunda kyokka nga liizi yaggwaako. Okuva olwo, kigambibwa nti ettaka lino lizze liguzibwa abantu ab’enjawulo nga kati Badru Din wa 10. Abatuuze bagamba nti  mu 1973, Idi Amin Dada ng’amaze okugoba Abayindi ettaka lino lyaweebwa Muhammad Nyanzi kyokka mu 2008 n’alivaako ng’Abayindi abaali balikaayanira bakomyewo mu Uganda.   

Badru Din bwe yamala okwezza ettaka lino, abatuuze abaali baalisengako n’abaana b’omugenzi Bbira n’abasengulako ku kifuba. Abamu ku batuuze abalinako ennimiro baategeezezza nti Omuyindi yasaawa ensuku n’emisiri gy’emmwaanyi zaabwe  n’ebirime ebirala. Embeera eno yawaliriza abatuuze okwekubira enduulu mu ofiisi ya pulezidenti ekola ku nsonga z’ettaka.

Charles Muwonge amyuka akola ku kunoonyereza ku by’ettaka mu ofiisi ya pulezidenti bwe yakoze okunoonyereza, yazudde ng’ekyapa ky’ettaka lino e Ntebe kiri mu mannya ga Hooda Bbira era bwatyo n’alagira abantu bonna abaalinako ebibanja okubiddako n’asaba Omuyindi Din agende mu kkooti bw’aba tamatidde.

Muwonge yasinzidde mu lukiiko olwatudde ku ttaka lino e Katereke n’alagira omubaka wa pulezidenti e Butambala, Ramathan Walugembe okuwa obukuumi abasenze bonna abalina ebibanja ku ttaka lino. 

Olukiiko lwetabiddwaako ssentebe w’e Butambala, Godfrey Bavekuno Mafumu Kyeswa, ssentebe w’eggombolola y’e Kibibi, Star Katende, DPC Musa Kayongo n’abatuuze.

Abaagobwa ku bibanja babibaddizza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bugembe ng'abuulira enjiri mu kusabira omugenzi Yiga.

Jjengo tolwana ntalo za kit...

Omusumba w'Ekkanisa ya Worship House e Nansana akubirizza Omusumba w’Ekkanisa ya Revival Christian Church Kawaala,...

Abakuumaddembe nga bakunguzza omuvubuka.

Abaabadde bakola effujjo mu...

Abavubuka abaagenze mu kuziika omugenzi Pasita Yiga Abizzaayo e Kawaala ku Lwomukaaga kyokka ne badda okunoonyeza...

Abatuuze nga basobeddwa mu lusuku lwa munnaabwe olwasaayiddwa.

Abantu ab'ettima basaayidde...

ABANTU ab'ettima abatannaba kutegeerekeka bakakkanye ku lusuku lw'omutuuze Jane Namakula 45, ow'e Kyassenya oluwezaako...

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...